KATIKKIRO wa Uganda, Robinah Nabbanja avumiridde ekifumbiza baana, okubasobyako n’okufuna embuto nga bato n’akissa ku masomero ga gavumenti agasaba abazadde fiizi, kyokka nga gavumenti egawa ssente e

Apr 22, 2024

KATIKKIRO wa Uganda, Robinah Nabbanja avumiridde ekifumbiza baana, okubasobyako n’okufuna embuto nga bato n’akissa ku masomero ga gavumentiagasaba abazadde fi izi, kyokka nga gavumenti egawa ssente ez’okusomesa abaana kw’ossa okusasula abasomesa.

Katikkiro Nabbanja (ku kkono), Kadaga (wakati), Nakadama, DPC wa Kamuli Ayeta n’abalala ku mukolo.

Munamawulire
Munamawulire @Bukedde

KATIKKIRO wa Uganda, Robinah Nabbanja avumiridde ekifumbiza baana, okubasobyako n’okufuna embuto nga bato n’akissa ku masomero ga gavumenti
agasaba abazadde fi izi, kyokka nga gavumenti egawa ssente ez’okusomesa abaana kw’ossa okusasula abasomesa. Bino yabyogeredde mu disitulikiti y’e Kamuli nga bajaguza olunaku lw’Abakyala ku ssomero ly’e Nabulezi mu ggombolola y’e Bulawoli mu disitulikiti y’e Kamuli wiiki ewedde. Yategeezezza nti kati gavumenti etandise okulaba omugaso gw’abakyala era kati be bali mu kintu ate bakivugira ddala bulungi okuggyako abo abeetya kw’ossa abamu abanyigirizibwa bakyala bannaabwe. Yagasseeko nti, wakyaliwo n’abaami abatulugunya abakyala nga babakuba engolo ’emiggo. Omumyuka asooka owa Katikkiro, Rebecca Alitwala Kadaga era minisita w’ensonga za East Africa aloopedde Nabbanja nti abantu b’e Kamuli bakyanyigirizibwa mu bintu eby’enjawulo nga ebbula ly’amasannyalaze, abantu babagoba mu ntobazzi,
kibooko ku nnyanja zeeyondde n’ebirala n’agamba nti singa ensonga zino ezikolwako kati, akalulu kandiba ak’enkalu mu Busoga. Minisita w’ensonga  ’Obwapulezidenti,  Babalanda yasiimye gavumenti ya NRM okuggya abakyala mu ffumbiro ne mu malwaliro okuzaala obuzaazi n’ebassa ku mwanjo nga kati bakulembeze nga bo kati bwe bali. Yasabye abakulembeze b’abakyala okukozesa omukisa gwe balina okulwanira
eddembe ly’abakyala. Ssentebe wa disitulikiti y’e Kamuli, Mastula Namatovu
yaloopedde Nabbanja nti palamenti yeeyongedde okusala ssente ezaali zijja mu kanso y’abakyala ate nga zibadde ziyamba okubakunga okukola ebintu ebyenjawulo

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});