'Tusaba palamenti eyise etteeka erikendeeza ku bajjanjabi mu malwaliro ga Gavt’

Sep 16, 2021

Akakiiko akavunaanyizibwa ku kuwandiisa abasawo mu ggwanga aka Uganda Medical and Dental Practitioners Council kasabye palamenti eteekewo ebiragiro ebigaana oba okukendeeza ku bajjanjanbi mu malwaliro ga gavumenti . 

'Tusaba palamenti eyise etteeka erikendeeza ku bajjanjabi mu malwaliro ga Gavt’

Munamawulire
Munamawulire @Bukedde

Bya Jaliat Namuwaya

Akakiiko akavunaanyizibwa ku kuwandiisa abasawo mu ggwanga aka Uganda Medical and Dental Practitioners Council kasabye palamenti eteekewo ebiragiro ebigaana oba okukendeeza ku bajjanjanbi mu malwaliro ga gavumenti .

Dr. Katumba Ssentongo, omuwandiisi ku kakiiko kano ategeezeza ng’ omujjuzo gw’abajjanjabi bwe gweyongede ennyo mu malwaliro ng’ abasawo batuuka n’okubulwa webayita okutuuka ku balwadde olw’okuba omulwadde omu aliko abajjanjabi nga munaana .

Annyonnyode bannamawulire nti abajjanjabi bano tebakoma kuleeta mujjuzo mu woodi wabula abamu beefuula abasawo ne banyagako abalwadde ssente  nga kw’otadde n’okukozesa ebintu by’omu malwaliro ng’ amasannyalaze , amazzi , ebitanda n’ebirala .

Dr. Mukuzi Muhereza , ssaabawandiisi mu kibiina ekigatta abasawo ba gavumenti ategeezeza nti amawanga agakulaakulana tegakkiriza bajjanjabi mu malwaliro era kino bwe kiba kyakutandikibwa wano , gavumenti erina okwongera kubungi bw’abasawo mu malwaliro abanaabudaabuda n’okujjanjaba abalwadde .

Omubaka Dr. Charles Ayume ate nga ye ssentebe w’akakiiko k’eyobulamu mu palamenti agambye nabo ng’ abakakiiko k’ebyobulamu kino bakiwagira era baakwogeraganya ne ministule y’ebyobulamu eteekewo ebiragiro ebikakali ku bajjanjabi mu malwaliro nga kw’otadde n’okuteekawo ebyuma bikali magezi ku miryango gy’amalwaliro .

Comments

No Comment

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});