Okufa kw'omukungu wa NAADs kwanise embeera eri mu Cancer Institute e Mulago

Aug 27, 2023

Ebitanda mu bisenge by’ekikungu e Mulago gye bajjanjabira kkansa byajjula-buli mulwadde kati ajjanjabirwa mu lukaleAbakungu mu kitongole kya gavumenti ekya NAADS baguddemu encukwe omu ku bannaabwe bw’afiiridde mu ddwaliro e Mulago mu Uganda Cancer Institute.  Okufa kw'omukungu wa NAADs kwanise embeera eri mu Cancer Institute e Mulago

Alice Nakiganda nga bw'abadde afaaanana

Ismail Nsubuga
Journalist @Bukedde

Ebitanda mu bisenge by’ekikungu e Mulago gye bajjanjabira kkansa byajjula-buli mulwadde kati ajjanjabirwa mu lukale

Abakungu mu kitongole kya gavumenti ekya NAADS baguddemu encukwe omu ku bannaabwe bw’afiiridde mu ddwaliro e Mulago mu Uganda Cancer Institute.

Wabula okufa kwa Alice Nakiganda Nyanzi, ng’ono y’abadde akwanaganya emirimu gya NAADS mu disitulikiti za Buganda kwanise embeera eri mu Uganda Cancer Institute omu ku bajjanjabi bw’ategeezezza ng’omulwadde bw’amaze wiiki bbiri mu ddwaliro lino ng’asaba okutwalibwa okufuna obujjanjabi obwekikungu ekimanyiddwa nga ‘private’ wabula ne kitasoboka.

Fr. Paul Ssebitoogo ng’ayigiriza mu mmisa ey’okusabira Nakiganda mu klezia e Mukono.

Fr. Paul Ssebitoogo ng’ayigiriza mu mmisa ey’okusabira Nakiganda mu klezia e Mukono.

Rachael Ssewanonda nga y’omu ku babadde abajjanjabi annyonnyodde wakati mu klezia ya St. Paul e Mukono ng’abakungubazi bakungaanye okusabira omubiri gw’omugenzi Nakiganda mu mmisa ekulembedde okuziika kwe n’agamba nti abasawo baakabatema nga ‘private ward’ mu Uganda Cancer Institute bwe zimaze ebbanga nga zijjudde nga kati tebasobola kuyingizaayo mulwadde mupya ne bw’abeera mukungu atya.

Ssewanonda agambye nti Nakiganda wakati mu bulumi nga n’ensimbi ezimujjanjaba azirina ssaako abantu abaagendanga mu ddwaliro okumulambulako nga balaba tekisaanidde kumujjanjabira mu lukale wabula ng’ate eddwaliro teririna nteekateeka yonna olw’omujjuzo ogutali mu kifo kya lukale kyokka wabula ne mu busenge bw’abakungu oba obusasulirwa mu ddwaliro lino.

Olw’okwagala okukakasa ebyogeddwa Ssewanonda, tukubye ku ssimu y’akulira Uganda Cancer Institute, Dr. Jackson Orem n’atutegeeza nga kino bwe kiri ekituufu.

Dr. Orem agambye nti wabula wadde ebisenge by’ekikungu kituufu byajjula, wabula obujjanjabi bwe bumu abalwadde bwe bafuna ng’abayayaanira eby’ekikungu bafa mbeera ya kifo ekitalina kyamaanyi kye kibagattako.

Abaana ba Nakiganda, okuva ku kkono; Gloria Nanyanzi, Raymond Mukwaya n’omuto Jonathan Yawe

Abaana ba Nakiganda, okuva ku kkono; Gloria Nanyanzi, Raymond Mukwaya n’omuto Jonathan Yawe

“Abasawo ne ba ddokita be bamu, ekikulu tekyandibadde kifo mulwadde wajjanjabiddwa wabula obujjanjabi bw’afuna bwe buba obutuufu,”  Dr Orem bw’annyonnyodde.

Bw’abuuziddwa oba balina essuubi erigonjoola embeera eno, Dr. Orem alaze nti tewali ssuubi lya mangu okusinziira ku nnyinnyonnyola ye okulaba ng’oba bagaziya ku kifo n’okuteekamu ebitanda ebirala eby’ekikungu.

Eno yandiba nga y’ensonga lwaki gavumenti mu biseera bino abakungu baayo n’abantu ba ssekinnoomu abeesobola okuli n’ababaka ba palamenti bwe balwala baddusibwa mu malwaliro agali ebweru w’eggwanga olw’embeera etali nnungi mu malwaliro mu ggwanga.

Wabula, gavumenti erina enteekateeka okuzimba amatabi ana aag’eddwaliro lya Uganda Cancer Institute omuli e Mbarara, Arua, Gulu n’e Mbale nga baluubirira kukkakkanya ku mujjuzo ogw’abalwadde ba kkansa abeeyiwa e Mulago mu Cancer Institute nga tebafudde ne ku bujjanjabi buliwo oba bumala oba nedda.

Abaana ba Nakiganda, okuva ku kkono; Gloria Nanyanzi, Raymond Mukwaya n’omuto Jonathan Yawe

Abaana ba Nakiganda, okuva ku kkono; Gloria Nanyanzi, Raymond Mukwaya n’omuto Jonathan Yawe

Emirundi mingi, abalwadde ba kkansa babadde balabibwa nga beebaka wansi ku ttaka ne mu lujja lw’eddwaliro lino erya Uganda Cancer Institute.

Fr. Paul Ssebitoogo nga ye bwanaamukulu w’ekigo kino ekya St. Paul mu kibuga Mukono y’akulembeddemu mmisa ey’okusabira Nakiganda ng’ayambibwako ba ffaaza ab’enjawulo ng’abantu bangi okuli abakozi mu NAADS abakulembeddwa ssenkulu waabwe Dr. Samuel Mugasi, abakozi ku disitulikiti y’e Mukono Nakiganda gye yasooka okukolera ssaako ab’oluganda abako n’emikwano bajjuzza klezia n’ekubako.

Fr. Ssebitoogo asabye abantu okulabira ku Nakiganda bakole bulungi nga bakyali balamu batuuke okufa ng’abantu tebabeekokkola.

Ye Dr. Mugasi ategeezezza nga Nakiganda bw’abadde omukozi ateebalira akola n’omutima gumu. NAADS ng’ekitongole bawaddeyo ensimbi obukadde 10 okukola ku by’okuziika ate abakozi ne bawaayo obukadde bubiri.

Abaana b’omugenzi nabo boogedde ku ngeri nnyaabwe gy’abadde n’omukwano gye bali n’abantu abalala wadde ng’abasinga babadde bamulaba ng’omukambwe ateemanyiiza.

Nakiganda alese abaanaa basatu okuli Raymond Mukwaya, Gloria Nanyanzi ne Jonathan Yawe ng’ono akyasoma mu S.3

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});