Nnyina gwe yasuula ku ddwaliro awa essuubi-waakusomera bwereere.

Oct 02, 2023

Omwana nnyina eyali olubuto gwe yasuula ku ddwaliro lya Mukono General Hospital omusawo n’amutwala n'atandika okumulabirira akuze bulungi era awa essuubi.

Okuva ku kkono, Susan Nakiganda omukulu w'essomero erisomesa Kigozi (wakati) ku bwereere, ku ddyo ye musawo Kaweesa alabirira omwana.

Henry Nsubuga
Journalist @Bukedde

Omwana nnyina eyali olubuto gwe yasuula ku ddwaliro lya Mukono General Hospital omusawo n’amutwala n'atandika okumulabirira akuze bulungi era awa essuubi.

Ezra Calvin Kigozi (5)  ye mwana eyasuulibwa nnyina ng’aweza omwaka nga gumu wabula nga wadde kkamera z’eddwaliro zaamukwata era ekifaananyi kye ne kiteekebwaa ku mikutu gy’amawulire egy’enjawulo, tewavangayo muntu alaga ng’amumanyi oba ye kennyini nnyina okuvaayo ng’anoonya ebbujje ye lye yeesuulira mu bugenderevu. 

Ono yatuumibwa amannya ago olw’okuba agage bazadde be ge baamutuuma tegamanyiddwa kuba n’obudde we yalondebwa yali tannayogera bulungi.

Okusinziira ku katambi k'eddwaliro akaakwatibwa kkamera zi mukettera wala, omukyala ono yalabibwa ng’tuuka mu ddwaliro n'aggya omwana mu mugongo n’amukwasa omu ku bajjanjabi mu ddwaliro ng’ategeezezza nga bwe yali agenda mu kiyigo okweyamba kyokka teyasobola kukomawo olwo ne gwe yamukwasa bwe yamulinda nga tadda naye n’amuleka awo n’agenda.

Musawo Kaweesa ng'asitudde omwana gwe baasuula mu ddwaliro n'amutwala amulabirire

Musawo Kaweesa ng'asitudde omwana gwe baasuula mu ddwaliro n'amutwala amulabirire

Omusawo ku ddwaliro, Ruth Peace Kaweesa agamba nti bino byaliwo mu mwezi gwa May mu 2020 mu kiseera ng'eggwanga liri mu muggalo gwa COVID 19. Kaweesa annyonnyola nti ng’obudde buwungedde, baalaba ekyana ekyali kikaaba nga teri akifaako ne bagezaako okubuuza ku balwadde oba abajjanjabi oba waliwo eyali nannyini ye naye nga teri olwo ne bakakasa nti omwana ono yali asuuliddwa.

“Bwe twakebera mu bifaananyi ebikwatibwa kkamera zaffe ez’eddwaliro, twalaba omukyala nga bwe yayingira mu ddwaliro n’engeri gye yasuulamu omwana ono. Olw’okuba eky’okukola waali tewakyali, ng’ate ye omwana enjala yali emuluma nnyo nga n’endabikaye si nnungi alaga nga yali amaze akabanga ng’alinga atalya mmere nga n’okutulugunyizibwa atulugunyizibwa ng’alina n’ebisago ku magulu, twamutwala ku poliisi ne tugitegeeza ku nsonga ze naye ne nneewaayo okugenda ngire nga mmukuuma n’okumulabirira nga bwe tulinda oba nnyina anazuuka,” musawo Kaweesa bw’annyonnyola.

Ono agattako nti baakanda kulinda nga buteerere kwe kukwatagana n’ofiisa wa munisipaali y’e Mukono avunaanyizibwa ku nsonga z’amaka n’abaana, n’amuwa olukusa okukuuma omwana ono n’okutuusa kati.

Wabula musawo Kaweesa agamba nti omwaka oguwedde ng’okusoma kutandise, banne ba Kigozi bwe baatuuka okugenda ku ssomero e Buloba gye gye basomera, Kigozi  n’abawonderanga ng’atuula ku ggeeti eyingira mu ssomero lya Creamville P/S e Buloba  nga bwe baamukimanga ng’akaaba nga kino kye kyakwata ku bannanyini ssomero lino kuba yakikolera wiiki nga nnamba nga tayagala kuvaawo kuddayo waka.

“Nnabannyonnyola ebimukwatako ne bakkiriza okumuyingiza asome ne banne wadde mu kiseera ekyo yali tannatuuka na bulungi ng’omwaka ogwo gwonna yagumalako ng’abeera ku ssomero ng’azannya. Baamuwa yunifoomu na byonna ebyetaagisa okusoma, omwaka guno tulaba nga by’asoma atandise okubitegeera obulungi era mugezi,” bwe yategeezezza.

Yagasseeko nti essomero lino lyawa Kigozi omukisa asomere bwereere nga talina wadde ky’asasuddeyo nga ne yunifoomu be bazimuwa.

Omukazi eyasuula omwana (ku kkono) ng'atuuka mu kifo ab'embuto we banywera eddagala ku ddwaliro e Mukono.

Omukazi eyasuula omwana (ku kkono) ng'atuuka mu kifo ab'embuto we banywera eddagala ku ddwaliro e Mukono.

Wabula musawo Kaweesa yasabye abanaalaba omwana ono nga bamanyi maamawe oba ow’olugandalwe yenna oba ye maamawe kennyini okuvaayo agende abannyonnyole nga bwe kiba ng’eky’okumusuula yakikola lwa mbeera mbi, bategeere, bw’aba yeesobola amutwale oba basigale nga bamulabirira naye nga bategedde nnyina n’ebimukwatako naye ng’ategedde omwanawe gyali n’embeera gy’alimu.

“Kiba kirungi omwana okukula ng’amanyi muzaddewe, kino nnakikola lwa kuyamba ate sinnakaluubirizibwa wabula twetaaga okumanya ebikwata ku bazadde ba Kigozi,” bwe yategeezezza n’asiima n’ab’essomero olw’okumutikkula ate omugugu ogw’okuweerera omwana ono nga kati ye asigazizza gwa kumulabirira na kumujjanjaba.

Susan Nakiganda, omukulu w’essomero lya Creamville yagambye nti omukuumi w’essomero ye yamutwalira omwana ono n’ategeera ebimukwatako oluvannyuma lw’okumanya nti gye yali ava yali atuuka ku ssomero ne baana banne era ne beeyama okumuyamba asome ng’abaana abalala ng’essomero libikolako.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});