Amawulire

Tuli balamu leero olw’ebikolwa bya Nuuwa

OLW’OKUBA okusanyusa Katonda ky’ekigendererwa ekisooka eky’obulamu bwo, omulimu omukulu kwe kuzuula engeri gy’okikolamu.

Tuli balamu leero olw’ebikolwa bya Nuuwa
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

OLW’OKUBA okusanyusa Katonda ky’ekigendererwa ekisooka eky’obulamu bwo, omulimu omukulu kwe kuzuula engeri gy’okikolamu.
Baibuli egamba nti, “Noonya ekinaasanyuka Kristo, era okikole. “Eky’omukisa Baibuli ekuwa eby’okulabirako ebitangaavu eby’obulamu obusanyusa Katonda. Erinnya ly’omusajja oyo yali Nuuwa.
Mu nnaku za Nuuwa ensi yonna yali terina mpisa. Buli muntu ng’akola bimusanyusa so si kusanyusa Katonda. Katonda teyasobola kufuna muntu yenna ku nsi ayagala okumusanyusa,bw’atyo n’anakuwala era ne yejjusa nti, yatonda omuntu. Katonda n’akoowa olulyo lw’omuntu era n’alowoozaako okuluzikiriza. Naye waliwo omusajja
omu eyaleetera Katonda akamwenyumwenyu. Baibuli egamba nti, “Nuuwa ye yali essanyu lya Mukama.” Katonda yagamba nti, “Omusajja oyo andeetera essanyu. Andeetera okumwenya. Nja kutandika buto n’amaka ge.” Olw’okuba Nuuwa yaleetera Katonda essanyu, ggwe nange leero tuli balamu. Okuva ku bulamu bwe tuyiga ebikolwa
bitaano eby’okusinza ebireetera Katonda okumwenya.
Katonda amwenya bwe tumwagala ekisukkiridde. Nuuwa yayagala Katonda okusinga ebintu ebirala mu nsi, ne bwe waali nga tewali n’omu akikola! Baibuli etutegeeza nti, obulamu bwe bwonna, “Nuuwa obutasalako yagoberera Katonda era ne yeeyagalira mu nkolagana ey’omunda naye.”
Kino Katonda ky’ayagala okuva eri buli muntu: enkolagana! Gano ge mazima agasinga okuba ag’ekitabo mu nsi, nti omutonzi waffe ayagala obumu naffe. Katonda yakutonda  akwagalaera naye yettanira naawe omwagale. Ayogera nti, “Ssaagala ssaddaaka yo
– njagala mukwano gwo; ssaagala biweebwayo byo –   njagala ommanye.”

Tags: