St. Gonzanga SS, Kijjukizo-Lyantonde limu ku masomero agatalekeredde nteekateeka ya kukuuma butonde bwa nsi nga beeyambisa ebimera.
Omusomesa Hamza Luwagga, avunaanyizibwa ku pulojekiti ya ‘Green Schools’ mu ssomero lino annyonnyola ku bye bakola:
Ogumu Ku Miti Gye Baasimba Mu Luggya Egigenda Okukola Kiragala Omulala.
Essomero lino lyatandikibwa Obusumba bwa Masaka ku musingi gw’eddiini y’Obukatoliki mu mwaka 1967 nga lyali lya bawala bokka.
Wabula olw’okusaba kw’abazadde mu 1984, lyafuulibwae ery’abawala n’abalenzi nga likoma ku siniya yaakuna.
Mu 1988, baalirinnyisa ne lituuka ku siniya eyoomukaaga. Lyatandika n’abaana 14 wabula kati basoba mu 900, ng’abawala be basingamu obungi.
Lisangibwa mu kibuga ky’e Lyantonde era okuva ku luguudo lw’e Mbarara otambulako mmita 300 zokka, nga liri ku kigo kya Kijjukizo, mu Lyantonde Town Council.
Oluggya Lw'essomero Olujjudde Kiragala Bwe Lufaanana Ebweru.
ENTANDIKWA
Essomero lino we liri lyali ttale nga lye baasaawa ne bateekawo ebizimbe abayizi mwe basomera.
Bw’osanga abayizi abaasookera mu ssomero lino bakugamba nti, emiti emikulu egiriwo gyasimbibwa abayizi abaasooka mu ssomero lino era baasinga kusimba gya bibala nga emiyembe n’ekigendererwa okukwata kibuyaga, okufunako ebibala n’okukola ebisiikirize, era kibawuliza essanyu okubeera nga n’abaddawo tebaagitemawo.
Okwo abalala kwe bongerezza n’okusimba ebimuli nga bwe bikaddiwa n’omuddo abayizzi ababeerawo kibakakatako ate okuddamu ne basimbawo omupya essomero ne libeera n’ekifaananyi ekirungi.
Omusomesa Hamza Luwagga.
ST. GOZANGA SS NE PULOJEKITI GYE BAKOLAKO
Okusookera ddala baayagala okukuuma essomero lyabwe nga jjonjo okusinga bwe gwali. Essira baaliteeka ku kukuηηaanya obucupa basobole okubukolamu eby’omugaso ebirala.
Kuno bagattako ebipapula okubikolamu ebyemikono nga obusawo obuteekebwamu ebintu. Obucupa nabwo babukolamu ensawo omuntu gy’asobola okutwala mu katale n’aguliramu ebintu ebitonotono ate nga ya njawulo ku z’abalala.
Bino byonna babikolera mu ‘Green Project Club’ gye baagunjaawo mu ssomero lino era kkiraabu eno egenda kubeerawo lubeerera mu ssomero lino ng’abapya be balina okusigala nga bagitambuza abakadde bwe babeera bamalirizza emisomo gyabwe.
Oluggya Lw'essomero Olujjudde Kiragala bwe Lufaanana.
OBUZIBU BWE BASANZE OKUKOLA PULOJEKITI ENO
Bwe bamala okulondalonda obucupa, babeera balina bye beetaaga ebirina okubayamba okulaba nga babugatta okusobola okuggyamu ekiruke ekirabika obulungi.
Kati osanga ssente ze beetaaga okubigula mu kiseera ekyo teziriiwo omulimu ne gutatambula bulungi nga bwe bagwetaaga oluusi n’obutaggwa mu budde.
ABAYIZI NABO PULOJEKITI ENO BAGITEGEDDE
Okubamanyisa pulogulaamu eno bayitira mu nkuηηaana abayizi bonna ze babeerako buli lwa Mmande n’Olwokutaano.
Era abasinga bagyagala nga okukuηηaanya obucupa n’ebibapula ne babiteeka we babikuηηaanyiza tewakyali gwe bajjukizza ate nga bakikola na kwagala.
Ebimu ku biruke bye baasooka okukola baabiguza abantu, kati abayizi bangi beenyigira mu kuyiga engeri gye babikolamu kubanga buli omu by’akola ssente z’aggyamu zibeera zize si za ssomero.
Abayizi Nga Bali Mu Kifo We Bakung'aanyiza Obucupa.
ABATUUZE MU KITUNDU NABO BABASOMESEZZA
Buli mwezi omulundi gumu tugendako mu bitundu ebiriraanye essomero ne tulongoosa nga bwe tukuηηaanya obucupa ne kasasiro.
Tetukoma okwo, tubasomesa n’engeri gye balina okukuumamu obutonde bw’ensi nga tebatema miti, tebookya bisaaniiko okuggyako okubikolamu ebintu ebirala eby’omugaso, okusimba emiti okwewala ekyeya era waliwo ababitadde mu nkola.
ABAZADDE NABO BAABASABA BULI OMU ASIMBEYO OMUTI
Essomero lino lyetooloddwa emiti wabweru waalyo ne munda, nga kizibu omuntu okuyitawo n’atakoppa nkola yaabwe era nga basimbye emiti mu maka gaabwe
nga ekifaananyi bakiggya ku ssomero lino.
Abalala babayigiddeko okusimba omuddo mu mpya zaabwe era oli ne bw’abeera nga oluggya lwe lufunda era waakiri afunako w’asimba omuddo okuziyiza ettaka okukulugguka.
Omu Ku Bayizi Ng'alaga Emu Ku Nsawo Ze Bakolamu Obucupa.800
Tetukoma ku kubunyisa mawulire ga kukuuma butonde eri bayizi bokka, wabula n’abasomesa nabo tubasomesezaamu era nga ffenna tutambulira wamu. Ogattako abazadde b’abayizi era okuva lwe twatandika pulojekiti eno buli muzadde twamusaba asimbeyo omuti gumu ewuw era abali okumpi n’essomero twagendayo ne tugirambula.