Abavuganya ku kya CEC baagala NRM ekyuse mu ssemateeka

ABAMU ku bavuganya  ku bifo mu kibiina kya  NRM eby’oku ntiko [CEC]  bavuddeyo ne bawakanya engeri tabamiruka waabwe agenda okutula e Kololo  by’agenda okugobeerera nga babasunsulamu.

Abavuganya ku kya CEC baagala NRM ekyuse mu ssemateeka
By Joseph Mutebi
Journalists @New Vision

ABAMU ku bavuganya  ku bifo mu kibiina kya  NRM eby’oku ntiko [CEC]  bavuddeyo ne bawakanya engeri tabamiruka waabwe agenda okutula e Kololo  by’agenda okugobeerera nga babasunsulamu.

 Ssebo ssentebe waffe era Pulezidenti w’e ggwanga Yoweri Museveni tusaba  okukyusa mu ssemateeka alungamya ekibiina kyaffe era tukyussemu  n’obuwaayiro obumu.

“Tekibeera kya bwenkanya abamu ku bannaffe betuli mu kuvuganya nabo ku bifo ebyenjawulo ebya “CEC” ate okubeera nga be bagenda okwetaba okutususulamu okusalawo ani agenda okuvuganya nabo kubanga ne bwe bagamba nti bwe kituuka okususnsula ekifo mw’oli ofulumamu ekyo kikyamu kubanga babeera batesezza dda buli omu awagire munne”Hakim  Kyesswa bweyategezezza.

                Bino babyogeredde mu lukungaana lwa bannamawulire lwe batuzizza ku                        Roots Resultant e Nakaseero mu Kampala eggulo nga  bakulembeddwamu  Hakim Kyeswa avuganya okukikirira ekitundu kya Buganda “NRM Central Executive Committee” kwavuganyzia ne Kiwanda Suubi abaddeyo, minisita omubeezi owa Micro Finance , Haruna Kasolo n’abalala .

Abaagala okwesimbawo nga beemulugunya

Abaagala okwesimbawo nga beemulugunya

Abalala ababaddeyo kwabaddeko  Christopher Buyera ayagala eky’obumyuka bwa ssentebe wa NRM mu buvanjuba “NRM Vice Chairperson Eastern Region”  Sserugo Sadat Nsegumire  kya “Vice Chairperson Kampala Region” ne Rehema Kyanika kya “National Chairperson NRM Women’s League

Yayongeddeko nti basaba ssentebe waabwe alondde akakiiko akatengeredde omuli  ba kaada ba NRM ne bannamateeka b’ekibiina be babeera batusunsulamu ekirungi ye ssentebe waffe yaayitamu dda nga tavuganyiziddwa.

Basabye akakiiko ka NRM ek’eby’okulonda kategeke enkungaana za bavuganya ku bifo bya CEC ezawamu kubanga ekirungi ekibiina kirina ssente tutambule eggwanga ffenna nga tukuyega abalonzi ku kaddala kamu tusobole      n’okulabako Rebbeca Kadaga ne Anita Among nga bagasimbaganye ku kaddala akamu olwo abantu balyoke bawulewo ani asinga ku munne enkiizo.

Christopher Buyera yagambye nti mu  kiseera kino ssentebe waffe  ow’ekibiina yetaaga ku bavubuka ku lukiiko lw’oku ntiiko kubanga abasingaayo batandiikira mu myaka  65 okugenda waggulu.

Buyera naye yasabye emivvuyo egyali mu by’okulonda okwakaggwa okunogerwa eddagala mu tabamiruka ono agenda okutula e Kololo.

Rehema Kyanika yagambye nti ku mulundi ng’omwana azaalibwa mu kibiina kya NRM, ayagala buli mmmemba agenda okulondebwa ku CEC, abeere ng’akulembeza nnyo ensonga z’abakyala naye kino kikolebwa nga omuntu gw’olonze amaanyi  omukyala omunnaku owa wansi.

Sserugo Sadat Nsegumire yasabye tabamiruka ono ayisse ekiteeso nti omuntu yenna ekibiina gwe kyali kikuteeka ng’abba obululu okwagala okuwangula ekifo ky’alimu abeere nga takkirizibwa nga kuddamu kwesimbawo ku kifo kya kibiina kyonna  okumala emyaka kkuumi