Omugagga mu kibuga ky’e Mbarara ne mu bitundu eby'enjawulo atunudde ebikalu abakungu okuva mu maka g’obwapulezienti nga bakulembeddwa Phiona Barungi nga bamukunya ku ttaka eriweza yiika 150 eririko okusika omuguwa. Barungi yeerayiridde okufaafaagana ne bannamateeka abagufudde omugano okunyaga ettaka ly’abantu.