POLIISI e Wakiso ekutte neggula emisango ku musawo w'ekinnansi egy'okufera abantu ng'abatereddewo akabiina ak'ekimpatiira.
Steven Nyanzi Muwanga ye yakwatiddwa nga kati ali mu kaduukulu ka poliisi e Wakiso era ng'ono okukwatibwa kyaddiridde abantu abagamba nti yabafera okuddukira ku poliisi.
Satifikeeti Ya Muwanga Emukakasa Nti Musawo Wa Kinnansi.
Poliisi y’e Wakiso yagenze ku ssabo lya Nyanzi ku kyalo Kikookiro mu Wakiso n'emukwata ne mukyala we era nga bano baggadde essabo Muwanga gy’abadde akolera.
Kyokka mu kukwata Nyanzi, waabaddewo ensiitaano nga Nyanzi atiisatiisa abaserikale nga bw’agenda okubaweereza empewo zibakoleko era kyatwalidde poliisi essaawa nnamba okusobola okukwata Nyanzi ne mukyala we.
Nyanzi akolera mu kibiina kya Uganda N’eddagala N'obuwangwa Bwaffe ekikulemberwa Sophia Namutebi amanyiddwa nga Maama Fiina.
Muwanga Ng'annyonnyola.
Vincent Ssekanjakko, abeera e Kireka Bbira yagambye nti Nyanzi olw'okuba alina essabo ewaka we, yatandikawo ekibiina ky'okutereka ssente eri ababa bazze okujjanjabwa era nti muno mwe yayita okubafera.
"Yateekawo obutabo mw’awandiika ssente ze tuba tumuwadde wadde ffe teturina we tuteeka mukono era nze mu myezi ebiri mbadde naakatekayo obukadde 2 n’ekitundu kuba yatusuubiza nti tuzigabana ku nkomerero ya mwaka" Ssekanjakko bwe yayongeddeko.
Yagambye nti Nyanzi yali yabateerawo akawaayiro nti ssinga oli aba ayagala ku ssente ze, asobola okuzimuwa wadde omwaka tegunnaggwako.
Nti Ssekanjakko ye yagenze okusabayo emitwalo 50 kyokka Nyanzi ng'amubuzaabuza okumala wiiki nnamba era okuddamu okuwulira nga bagamba nti baamukutte ali ku poliisi e Wakiso.
Yayongeddeko nti wadde ekibiina yateekawo omuwanika, buli ssente ekung’aanyizibwa Nyanzi yabadde agisigaza era ng'agikozesa nti mu Bible.
Najib Kyaddondo naye yaloza ku musawo Nyanzi yagambye nti yagenda okumujanjaba era Nyanzi namukolako ng'akozesa empewo.
Lisiiti Z'abalumiriza Muwanga Okubafera.
Kyokka nti ono yamuyitiramu ekintu ky'okutereka ssente era n’akigula. Nyanzi yamutegeeza nti asobola okutereka zonna z’ayagala kuba tewali muwendo gwa nkalakkalira.
Kyaddondo yagambye nti mu myezi 8 abadde yaakateekayo obukadde 5 era omwezi oguwedde yazimusabye agule poloti kyokka Nyanzi n’amubuzaabuza.
Ono yalemerako okubanja kyokka ekyaddirira Nyanzi yatandika okumuweereza ebisitaani era naye (Kyaddondo) kwe kusalawo okuzeesonyiwa n’addukira ku poliisi.
Hadijah Nalumu ne Annet Nazziwa, bankubakyeyo baategeezezza nti baagenda ebweru nga bamaze okweyunga ku kibiina kino era babadde baweereza ssente eri Nyanzi era ng'abakakasa nti aziterese bulungi.
Omu ku be baafera ataayagadde kumwatuukiriza mannya yagambye nti babadde bateresa Nyanzi ssente kyokka nga baamusaba nti ssinga abaako ettaka ly’aba afunye alibagulire olwo basasule mpola mpola.
Obumu Ku Bujulizi Abantu Abaaferebwa Bwe Baaleese Okulumiriza Muwanga Ku Poliisi.
Kyokka baatuuse okumusaba sitatimenti ku ssente zaabwe nga talina kyabaddamu era nebasalawo okukwatagana neba mmemba abalala mu Uganda okukwata Nyanzi.
Bukedde yatukiridde Maama Fiina okubaako byattanya ku musawo we Nyanzi kyokka namwegaana era natujuliza Hannington Kiwanuka Ssewaya ssentebe w'ekibiina kye mu Wakiso nti ye [Maama Fiina tamumanyi mubitabo bye.
Kyokka Ssewaya naye yagambye nti oyo ssi musawo waabwe natugamba tutukirire omumyuka we Joseph Mubiru yajja okubimaliriza.
Mubiru yakakasizza nti Nyanzi musawo waabwe era alina ne bbaluwa eyamuwebwa emukakasa mukibiina kyabwe.
Mubiru yagambye nti Nyanzi baamutukirira era nebakola okunonyereza nebalaba ng'alina empewo era kuno kwe baasinziira okumuwa ebbaluwa.
Yategezezza nti singa Nyanzi kinaazulibwa nti abadde akola ebikontana n'amateeka agenda kugobwa mu kibiina wadde nga bye babagamba bye yakoze bakyabinonyerezaako.
Yasabye abasawo okukola omulimu mubutuufu bwagwo kuba bangi berimbika omwo ate nebakola ebikolwa ebikyamu omuli n'okusaddaka.
Ye Nyanzi ku poliisi yategezezza nti abo bamulwanyisa bulwanyisi kuba alina abalwadde bangi nga kati bamupangira okulaba ng'omulimu gwe ogw'obusawo guggwawo.
Yagambye nti abagamba nti yababba baleete obukakafu bwa lisiiti eziraga bwebabadde batereka ssente zebamulumiriza okuzibba.
Dpc wa Wakiso Robert Katuramu yagambye nti bakyakola kunonyereza okuzuulira ddala Nyanzi byabadde akolera ku ssabo nengeri gyabadde abulankanya ssente nga bwe bimutekebwako.
Yategezezza nti oluvannyuma fayiro ejja kuwerezebwa ew'omuwaabi wa Gavumenti ku kkooti e Wakiso alungamye kukiddako kumusango.