Omusajja yeefudde omuvuzi wa boda boda n’alondoola mukaziwe okuva e Maya okutuuka e Lukaya mu Kalungu gy’amukwatidde n’omusiguze n’amuyisaamu agakonde.Ababiri bano balina omwana omu,era ng’omusajja baneyiba bebaamutemyako nti mukaziwe alina omusajja gw’apepeya naye.