KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II asindikidde abantu be Buweekula obubaka obubategeeza nti ekinaatwala Buganda mu maaso kwe kwerwanako.
Obubaka buno yabutisse Katikkiro Charles Peter Mayiga eyalambudde abalimi b’emmwaanyi mu kitundu kino eggulo ku Lwokubiri.
“Ku Mmande nabadde mu Lubiri, Kabaka n’antuma okutuusa obubaka buno eri abalimi b’emmwaanyi e Buweekula,” Mayiga bwe yagambye.
Obubaka buno yabutuusirizza ku kyalo Kyetume mu muluka gw’e Nabingoola mu ggombolola y’e Kasambya e Buweekula bwe yabadde alambula ennimiro y’omwami John Kayengere n’ategeeza nti Kabaka yeebazizza nnyo abantu b’e Buweekula olw’okukola ennyo n’okwenyigira mu kulima emmwaanyi.
“Tegeeza ab’e Buweekula nti amaanyi gaffe gali mu kwerwanako era nneebaliza abo abajjumbidde omulanga gw’okulima emmwaanyi,” Mayiga bwe yatuusizza obubaka bwa Kabaka eri Bannabuweekula.
Minisita w’ebyobulimi mu Buganda, Haji Amisi Kakomo yategeezezza ng’Obwakabaka bwe bwongedde amaanyi mu kutumbula ekirime ky’emmwaanyi era n’ategeeza nti mu kulambula kuno e Buweekula, abalimi baayigiriziddwa ebintu bingi okuli ennima ey’omulembe ate n’ebikozesebwa mu bulimi eby’omulembe n’ebikwata ku katale k’emmwaanyi.
Omwami w’essaza lino, Luweekula Immaculate Nantaayi Kafeero yategeezezza nga bwe balina abeegassi 4,000. Yaloopedde Katikkiro ensonga z’ettaka okuli ery’embuga y’essaza e Kaweeri aba disitulikiti lye baagala okwezza, embuga z’eggombolola okuli ey’e Kitenga ne Kasambya n’asaba wabeewo ekikolebwa.
Mayiga yatambudde ne baminisita; Noah Kiyimba, Israel Kazibwe, Ssaalongo Robert Sserwanga, abakungu abalala okuva e Mmengo, bannabyabufuzi e Buweekula okuli ababaka ba Palamenti Ndooli Museveni (Buweekula South), Grania Nakazibwe (mukazi Mubende), Didas Mubangizi nga munnabyabufuzi mu Buweekula South n’abalala.