Obujjanjabi obusookerwako ng’omuntu agudde ekigwo

Mar 22, 2024

OKUSINZITTUKA n’ogwa wansi, kintu ekisobola okutuuka ku buli muntu essaawa yonna. Osobola okugwa ng’odduka, oba nga waliwo ekintu ekikuteze, okuseerera ku seminti oba mu bisooto mu budde obw’akaseerezi.

First Aid.jpg

Munamawulire
Munamawulire @Bukedde

Bya Musasi waffe

OKUSINZITTUKA n’ogwa wansi, kintu ekisobola okutuuka ku buli muntu essaawa yonna. Osobola okugwa ng’odduka, oba nga waliwo ekintu ekikuteze, okuseerera ku seminti oba mu bisooto mu budde obw’akaseerezi.

Oyinza okufuna obuvune obutonotono oba obw’amaanyi ennyo, okusinziira ku ngeri gy’oba ogudde, n’ekifo w’ogudde.

Omukutu gwa https://firstaidforlife.org.uk gugamba nti erimu ku ddagala lye tumira, nalyo liyinza okukuleetera kamunguluze ne weekanga nga weerindiggudde ennume y’ekigwo. Omuntu bw’agwa wansi ng’omuli kumpi tosooka kupapa.

l Weetegereze olabe oba akyassa, oba nedda.

l Bw’aba assa, muwembejje bulungi nga bw’onoonya olabe oba aliko obuvune bw’afunye.

l  Bw’aba tassa, yanguwa mangu okuzuukusa omutima gwe ng’okozesa enkola ya CPR (cardiopulmonary resuscitation).

l Mu nkola eno, onyiga ku kifuba ky’omulwadde n’ekibatu kyo kyonna emirundi nga 30, bw’omala n’omufuuwa omukka mu kamwa, kimuyambe okutandika okussa, aleme kuyitirayo.

l  Noonya olabe oba waliwo awava omusaayi, oguziyize okufuluma, ng’osibawo akagoye akatukula oba bbandeegi.

l Bw’aba alina awazimbye, teeka bbalaafu mu kagoye omuteeke awazimbye, kimuyambe okukkakkana ku bulumi, n’okukendeeza ku kuzimba.

l Londoola omuntu oyo okumala essaawa 24, bw’ozuula ng’alumizibwa olw’obuvune, mutwale mu ddwaaliro ajjanjabibwe

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});