Makerere ne MUBS zeesozze semi mu mpaka za East Afrika

9th June 2022

Okuvuganya kwa maanyi naye tugenda kulwana tufiirewo okulaba nga tukomawo n'ekikopo ky'omupiira.

Ttiimu ya Makerere University nayo yeesozze semi mu z'omupiira.
NewVision Reporter
@NewVision
#MUBS #Makerer #FASU All Africa University Games #Kenyatta University
10 views

2022 FASU-All Africa University Games;

Ensiike za MUBS mu kibinja B

Kenyatta University 0-2 MUBS

MUBS 5-1 American University of Cairo

MUBS 3-0 University of Guinea

Makerere mu kibinja A

Makerere 2-1 University of Developmental Studies

Makerere 0-1 University of Zambia

Makerere 4-0 Kiisi University

Semi fayinolo

Makerere – University of Egypt

MUBS – University of Zambia

YUNIVASITE za Uganda zitaddewo omutindo omulungi mu mpaka z’omupiira eza ‘FASU-All Africa University Games’ eziyindira mu kibuga Nairobi ekya Kenya. Makerere University Business School (MUBS) ne Makerere University of Kampala (MUK) ze zokka ezaakiikiridde Uganda mu mupiira era zombi zaayiseewo okwesogga oluzannya lwa semi ku yunivasite nnya (4) ezaabadde mu buli kibinja A ne B.

MUBS yawangudde ensiike zaayo zonna essatu (2-0, 5-1 ne 3-0) ate Makerere yakubiddwaamu University of Zambia (1-0) wabula yavudde mu kibinja nga ttiimu ekutte ekyokubiri.

Ayiekho (ku kkono) ng'ayogerako n'abazannyi ba MUBS.

Ayiekho (ku kkono) ng'ayogerako n'abazannyi ba MUBS.

Charles Ayiekoh atendeka MUBS agamba nti okuvuganya kwa maanyi naye ekikopo bagenda kukifiirako okukireeta mu ggwanga ku mulundi guno. FASU (ekibiina ekitwala emizannyo gya yunivasite mu Afrika) ku luno kyawadde olukusa yunivasite zonna ezisobola okwetaba mu mizannyo gino okujja okwawukanako n’emyaka egiyise buli ggwanga bwe libadde lisindika ttiimu emu ng’erimu abazannyi ab’enjawulo okuva mu yunivasite ez’enjawulo.

Mu mizannyo emirala egiwedde, American University of Cairo yawangudde zaabu mu ttena w’oku mmeeza. Lagos State University yatutte feeza ate Kenyatta University n’etwala ogw’ekikomo.

Mu misinde gy’abasajja mmita 1500, Charles Baah owa University of Education yawangudde zaabu, Gideon Lemerian (feeza) ne Muhammed Aziz owa University of Ghana n’atwala ogw’ekikomo. Mmita 1500 abakazi; Nega Ayinalem owa Tenebeb-Addis Ababa University eya Ethiopia yawangudde zaabu, Weitsz Simonay (ffeeza) n’ogw’ekikomo ewa Welma Nkuna owa University of Johannesburg eya South Afrika.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.