Eyali gavana wa Rotary Nabbumba atongozza kampeyini y'okusimba emiti 5,000 e Mukono

30th October 2023

BANNALOTALE bakubiriziddwa  okwagazisa abaana abato n'abantu mu bitundu gye bakolera okwetaba mu pulojekiti ze bakola, kizisobozese okugenda mu maaso bbo ne bwe baba tebaliiwo.

Nabbumba akutte enkumbi ng'atongoza kampeyini y'okusimba emiti e Makukuba ali ne Fredrick Kitandwe pulezidenti wa Rotary Club y’e Kasangati n'abakulembeze abalala.
NewVision Reporter
@NewVision
#rotary #okusimba #emiti #Makukuba Mukono

Bya Ponsiano Nsimbi

BANNALOTALE bakubiriziddwa  okwagazisa abaana abato n'abantu mu bitundu gye bakolera okwetaba mu pulojekiti ze bakola, kizisobozese okugenda mu maaso bbo ne bwe baba tebaliiwo.

Bino byayogeddwa eyali disitulikiti  gavana wa district 921, Rosetti  Nabbumba bwe yabadde atongoza kampeyini za bannalotale okuva mu club ez'enjawulo nga bakulembeddwaamu Rotary club y'e Kasangati mwe bagenda okuyita okusimba emiti egisoba mu ,5000 ku kyalo Makukuba nga bali wamu n'ebitongole eby'enjawulo ng'omukolo gwabadde ku somero lya Shared Love e Makukuba Mukono.

Yagambye nti pulojekiti ezigenda okukolebwa ziggwa mu miramwa gya bannalotary omusanvu okuli eby'obutonde bw'ensi, ebyenjigiriza, ebyobulamu, ebyembeera z'abantu, obuyonjo n'ebirala.

Nabbumba yagambye nti  kyabuvunaanyizibwa okwagazisa abaana n'abantu mu bitundu bino obukulu bwa bannalotale, kiyambe emirimu egitandikiddwaako okugenda mu maaso nga bagyenyigiramu butereevu.

"Emiti gya mugaso eri obulamu bwaffe nga gituyamba okulwanyisa ekyeya, okutangira kibuyaga,okutuwa empewo ennungi ate n'okutuwa emmere y'ensonga lwaki tukulembeza okusimba emiti gy'ebibala"Nabbumba bwe yategeezezza

Pulezidenti wa Rotary Club ye Kasangati, Fredrick Kitandwe yategeezezza nti baatandika n'okudduukirira essomero lino nga balizimbira ebizimbe, oluvannyuma lw'okukizuula abaana bangi baali tebasoma olw'amasomero okubeera ewala.

Era oluvannyuma baakizuula nti bwe beegattira awamu kyanguya empereeza yaabwe n'okuggusa pulojekiti eziba zitandikiddwawo n'okuleka omukululo emabega.

Yagambye nti baagala okulaba nga buli kiraabu ebaako ky'ekola mu kitundu kino mu kutuukiriza emiramwa gyabwe emikulu mu kukyusa obulamu bw'abantu ku byalo 11 nga kino kigenda kukolebwa mu myezi ogwo mwenda.

Meseach Sserwaniko, dayirekita w'essomero lino yategeezezza nti entandikwa yaabwe yali nzibu nnyo wabula okuva bannalotale bwe bwe babeegattako ebintu bikyuse nnyo mu kitundu kino.

 

 

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.