ABAZADDE bakubiriziddwa okusomesa abaana abawala ng'omu ku kaweefube w'okukendeeza ku muwendo gwa ssente ezisasaanyizibwa mu kusomesa abantu abakulu ku biki bye balina okukola okwebezzaawo, nga kino kiva ku kuba nti tebaasobola kumaliriza misomo gyabwe.
Okukubiriza kuno kukoleddwa munnalotale, Dr. Clarke Nannyonga, amyuka chansala ku Clarke International University bw'abadde ku mukolo gw'okutongoza okusonda ssente eza pulojekiti ya Rotary club eya Muyenga Sunday Sunset, ey'okulabirira n'okuweerera abaana abawala ababeera mu bitundu by'omugotteko e Namuwongo, emanyiddwa nga Girl Empowerment, ng'omukolo gubadde ku Latitude Hotel e Makindye.
Dr Clarke ategeezezza nti trillion eziri wakati wa 15 ne 30 eza ddoola ze zisasaanyizibwa okussawo pulojekiti eziwanirira abaana abawala abawanduse mu masomero, kyokka nga ssente zino ziba zisobola okuggya abantu mu bwavu n'okukola pulojekiti endala.
Dr. Clarke agambye ebitundu 28 ku 100 be baana abawala abawanduka mu masomero nga bino biva ku bintu eby'enjawulo okuli obwavu, eby'obuwangwa ebimu ebikolebwa, obutabanguko mu maka n'ebirala.
Wano aba Rotary Club ya Muyenga Sunday Sunset we basinzidde okusonda ssente okwongera okutwala pulojekiti eno mu maaso.
Gavana Emmanuel Katongole agambye nti abaana abawala basaale nnyo mu kukulaakulanya eggwanga n'okulabirira amaka bw'atyo n'akuutira bannalotale okwongera okubalabirira obuteebalirira.
Ono ategeezezza nga bwe yalaba bakulu be abawala basatu bwe babonaabona, maama waabwe bwe yatuuka okubaggya mu somero balekere ye asome, ekyabaviirako okufa nga kino kyava ku kuba nti baali bavudde mu ssomero, omu n'afuna olubuto ku myaka 15 kyokka yaggwaamu omusaayi ng'agenda okuzaala n'afa, ate ababiri ne balwala mukenenya nga kino kyamuwaliriza okutandikawo Rotary Mengo Blood Bank n'ekkolero lya Quality Chemicals erikola eddagala eriweweza ku kawuka akaleeta siriimu.
Abamu ku baganyuddwa mu pulojekiti eno kuliko Buyenyiya Ndagizimana, nga bannalotale baweeredde muwala we Amutuhaire Catherine n'abalala. Ono abasabye okwongera okubadduukirira nga bayamba banne abalala abatalina mwasirizi okubatwala mu ssomero n'okubayamba okubazimbira kabuyonjo. Ono akolimidde abasajja ababazaalamu abaana kyokka ne babalekera obuvunaanyizibwa.
Obukadde 40 ze zisondeddwa ku mukolo guno nga ku zino Gavana Katongole awaddeyo obukadde butaano ate pulezidenti wa Club ya Muyanga Sunday Sun set, Aggrey Ashaba n'awaayo obukadde 19.