Balaajanidde Gav't okwongera ku ssente ezijjanjaba abalwadde b'emitima mu bajeti ya 2025/26

4th March 2025

ABAZADDE  b'abaana abatawaanyizibwa ekirwadde ky'omutima balaajanidde gavumenti eyongera ssente mu by'obulamu mu mwaka gw'ebyensimbi ogujja kiyambeko mu kwongera kubungi bw'ebyuma n'abasawo abakugu ku ddwaliro ly'ab'emitima e Mulago .

Balaajanidde Gav't okwongera ku ssente ezijjanjaba abalwadde b'emitima mu bajeti ya 2025/26
NewVision Reporter
@NewVision

ABAZADDE  b'abaana abatawaanyizibwa ekirwadde ky'omutima balaajanidde gavumenti eyongera ssente mu by'obulamu mu mwaka gw'ebyensimbi ogujja kiyambeko mu kwongera kubungi bw'ebyuma n'abasawo abakugu ku ddwaliro ly'ab'emitima e Mulago .

Winne Nabachwa okuva mu disitulikiti y'e Kalungu ono nga maama w'omwana  ow'emyaka 3 eyazuulibwamu obulwadde bw'omutima yattottode obulumi omwana we bw'ayitamu okuva bwe yazaalibwa.

Yagambye nti omwana we yatandika okulwala okuviira ddala nga wa nnaku 3 okutuusa bwe bamutwala e Mulago omwaka oguwedde gye baakabatemera nti alina ebituli 2 ku mutima era okuva kw'olwo banoonya ssente za bujjanjabi.

Ebyembi e Mulago baabategeeza nti waliwo ebyuma bye batalina era ng'omwana ateekeddwa kutwalibwa Buyindi alongoosebwe.

Cissy Nayiruba omutuuze w'e Maya naye agamba obulamu tebwasigala kye kimu okuva omwana we bwe yazuulibwamu ekirwadde kino.

Winnie Nabachwa ng'asitude omwana we atawaanyizibwa obulwadde bw'omutima

Winnie Nabachwa ng'asitude omwana we atawaanyizibwa obulwadde bw'omutima

Abakyala bano oluvanyuma lw'okwekubira omulanga aba Rotary Club ya Kampala Sesse Island nga bali wamu n'Abayindi abeegattira mu kibiina Kyabwe ekya Indian Association Uganda bavuddeyo okubadduukirira nga bano bakutwala abaana 8 e Buyindi okulongoosebwa .

Ssentebe w'ekibiina ky'Abayindi Raju Sareen nga asinzira mu lukung'aana lw'abamawulire lwe batuuzizza ku Kati Kati Restaurant e Lugogo yategeezezza nti ebisale by'eddwaliro mu India abaana bano gye bagenda okulongoosebwa baamaze dda okubisasula so ng'ate era ne tikiti z'ennyonyi nazo nsasule era mu wiiki eno abaana bano baggya kuba batwalibwa bafune obujjanjabi buno .

Aba Indian Association Uganda nga  bali wamu n'abazadde saako n'abaana abalwadde b'emitima abagenda okulongoosebwa

Aba Indian Association Uganda nga bali wamu n'abazadde saako n'abaana abalwadde b'emitima abagenda okulongoosebwa

Yagasseeko nti bongedde okufuna abazadde ababatuukirira nga babasaba okubakwatizaako abaana baabwe basobole okufuna obujjanjabi ekintu ekyeraga olwatu nti abazadde bangi bali mu kusoberwa.

Kyokka yawadde essuubi nti enteekateeka yaabwe yaakuyamba abaana 100 .

Ku baana abasoba mu 1,600,000 n'emitwalo 60 abazaalibwa buli mwaka mu ggwanga abaana 160,00 be bazuulibwamu obulwadde bw'emitima nga ku bano 8,000 babeera beetaaga okulongoosebwa.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.