ABA Rotary Club ye kanyanya baddukiridde abasiraamu be Mpererwe n’eby’okusibulukuka ne basaba abantu obutasosola mu mawanga na ddiini kuba omutonzi ali alyo ne bakubirizza n’abantu okusiiba kuba ly’erimu ku ddagala eriwangula buli mbeera mbi.
Aba Rotary ye Kanyanya nga bawaayo eby'okusiibulukuka
Ronald Ngobya Mukasa pulezidenti wa Rotary Club of Kanyanya eyakulembeddemu ba mmemba ba Rotary yategeezezza nti waliwo abantu abasosola mu ddiini n’amawanga kye yagambye nti kikyamu kuba omutonzi alimu ng’abantu balina kuba bumu mu buli mbeera ng’omusiraamu bw’aba alina obwetaavu tekigaana mukatuliki ku muddukirira , yagambye nti Rotary yonna munsi tesosola bweba eyamba abantu eyambira wamu .
Dan Maziga pulezidenti Rotary ye Kanyanya addako yagambye nti mu kiseera kino abasiraamu bali mu kisiibo n'abakatuliki nga tekirina w'ekiganira ab'eddiini endala okusIibulula abasiraamu ne bwekiba nga mu bintu bye baatwalidde abasiraamu mulimu ensaniiya, obuddomoola obukozesebwa okufuna wuzu, eby’okusibulukukirako , kuluhani n’ebirala
Bannalotale be Kanyanya nga boogerako eri Abasiraamu
Geofrey Kulubya akwasaganya eby’amawulire mu Rotary ye Kanyanya yagambye nti okusiiba ly’erimu ku ddagala eriwangula buli kizibu n’asiima n’abasiraamu okusomesa abantu okubeera obumu , Akim Kaduyu lmam w'omuzikiti gwe Mpererwe nga yatwala ne twale rye Mpererwe , yagambye nti buli lunaku basibulula abantu 200 n’omusobyo n’asiima aba Rotary olw’okubaddukirira n’abakakasa nti omuntu omugabi katonda amusasula