Abantu okuva mu bitundu eby’enjawulo batandise okwettanira okugula ebya Ssekukkulu, bwogendako ku midaala n’obutale kati bali mu keetalo
E Wankuluku okumpu n’ekisaawe, ku mudaala gwa Ibra Star Irish depot, we batuusiza obummonde n’okutunda eby’okulya ebirala omuli; amatooke, wootameloni, ennyaanya, obutungulu, carrot, emboga, ensujju, enkoko, obutunda n’ebirala, we bwazibidde eggulo ng'emmotoka zisimbye lwa kasota okwegulira ku bya ssava nga bakira abamu bapakira busawo bwa bummonde.

Ibra Ssennabulya, nnannyini mudaala guno agamba nti, omulundi guno abaguzi beeyongeddeko ku mudaala gwe okusinga bwe gwali omwaka oguwedde, nti era alina essuubi nti w'anaaviira mu nnaku enkulu ajja kuba tatoma kuba n’abanene bangi bajja ku mudaala gwe okusuubula eby’okulya n’okugabula abantu baabwe abalala.
Yeebazizza Naalinya Sarah Kagere okumuwa omukisa nga ye omuvubuka okukozesa ekifo kubanga naye kati awa abavubuka abasoba mu 30 emirimu okukola mu mudaala gwe guno.
