Amawulire

ABASIBE mu makomera ag'enjawulo abaayise obulungi ebigezo byabwe ebya S4, baweze nga bwe bagenda okutuukiriza ebirooto byabwe

ABASIBE mu makomera ag'enjawulo abaayise obulungi ebigezo byabwe ebya S4, baweze nga bwe bagenda okutuukiriza ebirooto byabwe, wadde bakyali mu makomera.

ABASIBE mu makomera ag'enjawulo abaayise obulungi ebigezo byabwe ebya S4, baweze nga bwe bagenda okutuukiriza ebirooto byabwe
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

ABASIBE mu makomera ag'enjawulo abaayise obulungi ebigezo byabwe ebya S4, baweze nga bwe bagenda okutuukiriza ebirooto byabwe, wadde bakyali mu makomera.

Abamu ku basibe bano, wakati mu kujaganya olw'okuyita ebigezo, bagambye nti baagala kusomerera busomesa, okubala ebitabo, looya, okuddukanya eby'obusuubuzi n'ebirala bingi.

Abasibe 40 mu Uganda government Upper Inmate Prison School e Luzira , be bawandiikibwa era 39 ne batuula . e Mbarara baali 12  era nga bonna baayise.

Basiimye akulira amakomera mu ggwanga Dr. Johnson Byabashiaja  n'abaddukanya amakomera abalala, olw'omukisa oguzze gubaweebwa okusobola okwongera okubangulwa

Tags: