Amawulire

Abagambibwa okibeera abamenyi bamateeka 160 bakwatiddwa mu bikwekweto mu Kampala

ABAGAMBIBWA okubeera abamenyi b'amateeka abasoba mu abasoba 160, be bakwatiddwa mu bikwekweto ebyenjawulo, ebikoleddwa mu Kampala n'emiriraano. 

Abamu ku baklwatiddwa mu bikwekweto
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

ABAGAMBIBWA okubeera abamenyi b'amateeka abasoba mu abasoba 160, be bakwatiddwa mu bikwekweto ebyenjawulo, ebikoleddwa mu Kampala n'emiriraano.

E Kajjansi , poliisi e kutte 15 abagambibwa okubeera emabega w'ebikolwa by'obubbi n'okumenya amayumba.

Ekikwekweto kikoleddwa mu Akright Estate ne Kinyarwanda e Kajjansi ku luguudo lw'e Ntebe ne bakwata abagambibwa okubba amasimu ssente, nnamba plates  n'ebyomunnyumba.

Bagiddwa mu bizimbe ebitanaggwa , ebyalekebwa ettayo, amabaala, ebifo omuzannyirwa zzaala, n'ebifo ebirala mwe bateegera abantu.

e Nateete , Busega zooni 8, Musoke zooni, Kabaawo, Busega Central C ne Kibumbiro, bayodde 71 era nga bakuumirwa ku poliisi e Nateete.

Yo mu  Kinaawa, Nabaziza, Masanda , Kyengera mu  Nsangi ne bakwata abasoba mu 80.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala ,Recheal Kawala, ategeezezza nti okubasunsulamu kugenda ku kolebwa era ng'ebikwekweto ebirala, bikyagenda mu maaso

Tags: