Amawulire

Omuvubuka agambibwa okutta omukozi wa University ya UCU, bamukunudde mu disitulikiti y'e Budaka

Omuvubuka agambibwa okutta omukozi wa University ya UCU, bamukunudde mu disitulikiti y'e Budaka gy'agambibwa okuba nti gy 'abadde yekwese. 

Omuvubuka agambibwa okutta omukozi wa University ya UCU, bamukunudde mu disitulikiti y'e Budaka
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Omuvubuka agambibwa okutta omukozi wa University ya UCU, bamukunudde mu disitulikiti y'e Budaka gy'agambibwa okuba nti gy 'abadde yekwese. 

Pamela Tumwebaze abadde akola nga Director of Student Affairs ku UCU, yattiddwa mu wiiki eno, abazigu bwe bamulumbye mu makaage agali mu Guafu e Seeta mu disitulikiti y'e Mukono ne bamutuga n'afa nga yakatuusibwa mu ddwaaliro

Kigambibwa nti omutemu eyalabiddwako ng'ayambadde sikaati y'omugenzi, yakuliise ne laptop ye, n'ebintu ebirala. 

Akwatiddwa ye Ddaka Hussein eyaliko omukozi mu maka g'omugenzi era nga kigambibwa nti bamusanze n'ebimu ku bintu by'omugenzi.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Recheal Kawala, agambye nti okunoonyereza kugenda mu maaso

Tags: