Akabinja k’abavubuka abagambibwa okuba aba boda boda balumbye amaka agookubiri ag’omusajja eyeeyita owa CMI gwe balumiriza okwenyigira mu ttemu lya ba boda boda. Bagakoonye nebagawangula enzigi. Poliisi erabudde abeenyigidd emu bikolwa b’no eby'okutwalira amateeka mu ngalo nti bonna baakukwatibwa.