Seminario Enkulu ey’e Ggaba, eyakajaguza emyaka 50 bukya egunjibwawo , ewolerezebwa Bikira Maria Omutuukirivu era ensonga ezikwata ku Maama Maria ezitwala nga nkulu nnyo.
Eno nno y’ensonga kwaki mukiseera kino nga Klezia Katolika ekuza omwezi gwa Maama Maria, Abaseminario abajisomeramu baasazeewo okutegekera Abakristu ekivvulu ky’ennyimba za Maria.

Ggaba
Ekivvulu kino ky’abaddewo mu Seminario eno (e Ggaba) ku Ssande nga October 8, 2023. Kkwaya y’Abaseminario y’ayimbidde Abaristu ennyimba za Maria ezaayiyizibwa abayiiya ab’enjawulo, okuva mumasaza ga Klezia Katolika gonna mu Uganda. Baayimbye n’ennyimba ez’ayiyizibwa abazungu.
Ekivvulu kino eky’abaddewo akawungeezi kyetabiddwako ne Ssenkulu wa Seminario eno, Faaza Dokita Lazaarus Luyinda