Bya Daphine Nakalyoowa Semakula
Omugenzi Kato Lubwama eyaziikiddwa ku Lwokusatu e Nkozi, ensi emutenda okuba omusajja abadde omulungi, ayagaliza, kazannyirizi atazikkawo, omuyimbi ate nga mumalirivu mu by’akola naddala mu katemba naye ate abalala bagamba nti abadde n’oludda olulala olw’okuba ne ffujjo eritagambibwa.
Bangi bagamba nti effujjo lye nga terikoma mu katemba mwokka naye ng'alikola ku buli muntu omuli ne mikwago gye.
Effujjo lino libadde lyeyorekera ne mu bigambo byabadde atera okukozesa ng’agamba nti abantu basiru. Kino kyawalirizza muwala we okusaba abantu babasonyiwe bwe yabadde ayogera ku kitaawe ku National Theatre.
Kato Lubwama, Mariam Ndagire, Sarah Mukasa Ne Ashraf Ssemwogerere Bwe Baali Mu Diamonds.
“ Mbasaba taata mumusonyiwe olw’okubavuma naye bambi abadde tavuma mwe mweka naye nga naffe ng'atutwaliramu.’’
Ye yennyini ng'ayogera mu katambi n'omubaka Muhammed Nsereko yamugamba nga bwe yapakira omulambo gw'omwana we mu kikapu n'agutwala mu offiisi ya munnakatemba era eyali mukama we Omugave Ndugwa mbu yali ali ku 'luseke agende aziike'' era nti omulambo guno yagutambuza n'awalala.
''Kato sirabanga muntu ali confused nga gwe n'ondeetera omulambo mu offiisi yange,'' Omugave bwe yamugamba nga bamaze okuziika omwana.
Mubarak Munyagwa eyali omubaka wa Kawempe South abadde nfa nfe wa Kato Lubwama bwe yabadde mu lumbe yagambye nti omugenzi buli lw'abadde ajja mu makaage ng' agawamba era ye (munyagwa) n’abanga omugenyi.
Nsubuga Masanda bwe yabadde ku Bukedde TV ne Pulezidenti w’olugambo, Josephat Sseguya wiiki ewadde yakikaatiriza nti omugenzi ye mu butuufu abadde n’effujjo.
“Omanyi Kato nga tannagula mmotoka Abby Mukiibi ye yamuvuganga mu yiye era nga bw’amala emirimu gye ng’ayingira mu mmotoka ye. Musajjawattu ne bwe yabanga agenda walala nga ye (Kato) tebimukwatako ng'alina okumutuusa e Mutundwe, olwo nalyoka adda ewuwe’’.
Kato Lubwama
Omubaka wa Kampala Kampala Central Division, Muhammed Nsereko abadde munywanyi we yagambye nga bw’aba atabuse naye amutwaliramu n’amugamba nti 'naawe nvaak'o naye ng’ekirungi takuuma busungu.
Olumu bwe yali ku ttivvi emu baamubuuza nti kati ky’otegeeza nti banno be wali okolala nabo ku CBS wabakyawa n’agamba nti nedda naye nabaggalira eyo gye bali.
Bannakatemba bamwogeddeko ntina badde n’obusungu obungi naye nga bumuvuvaako mangu. Bwe yabayigirizanga katemba oba okuyimba nga tebabikwata ng’asamba obutebe era nti baafubanga okulaba nga talina butebe bumuliriraanye.
Olumu yalagira omukozi wa ttivvi Isaac Kawalya nti ‘Kayz nva mu maaso, olwo ng’amusoya ebibuuzo bye yali tayagala kwanukula.
''Bannayuganda bali 'too shallow' onyiiga otya kubanga Kato Lubwama ayambadde ekinu naye nga naawe ky’oyambala awaka. Waliwo omukazi eyali amanyiira mu America ne mugamba nti Uganda yakulema n’ojja eno oyoze abakadde, oyo teyaddamu. Nze bw’oba omanyiira kuweerawo seekweka'' bwe yagamba.
Kato Lubwama Ng'awennemba N'emisango Gy'obutasoma Mu Kkooti.
''Waliwo okwekalakaasa n’ensanga abavubuka ba NUP baalinga 10 nga batadde ebipiira mu luguudo mbu buli ayitawo alina okusasula ssent,e ne bagamba obubbi bwammwe mukama wammwe ayagala kubutongoza. Omu yaggyayo omuggo ankube naye talikiddira anti nze naggyayo 'wheel span'. Ndowooza Faridah Nakazibwe ompita wa kusaaga mbuuza ono omuvubuka wammwe Sam, nti Kato Lubwama yaani. Wano yali ku NTV.
Abby Mukiibi yagambye nti olumu baagenda okusaba visa okugenda e Bungereza ne bamubuuza (Kato) nti kiki ekiraga nti onookomawo mu Uganda.
"Nze Michael Jackson wa Uganda era Michael Jackson tayinza kuva mu Amerika n'alemera e Uganda. Oba mumpa visa mumpe oba temumpa mulekeeyo. Era bombi baafuna visa ne bagenda e Bulaaya.
Mbu ate nga bwatuuka okunyiiga ayitirira. Ashraf Ssemwogere agamba nti yamunyiigirako okumala emyaka etaano ne John Ssegawa.
Ng’amanyi okugamba nti kati gwe ngenda kwesonyiwamu okumala ebbanga era n’akituukiriza.
Abamu babaddenga beebuuza nti oba empewo z’ekika ze zibadde zimukozesa ebintu bino, abalala nti abadde mu katemba ate abooluganda nga bagamba nti alina gwe yafaanana mu kika eyalina effujjo eryo.
Oyo yabadde omugenzi Kato Lubwama! Wummula mirembe.