Ssenga, nnaggyamu embuto 2 nga nkyali muvubuka, kati abasawo bagamba sikyasobola kuzaala, nsaba ku magezi

Ssenga nga nkyali muvubuka naggyamu embuto bbiri naye abasawo bang’amba nti sisobola kuzaala kubanga enseke zaayonooneka. Kati senga olowooza abasawo bang’amba kituufu? Kubanga waliyo omusajja gwe bagamba ayinza okunnyamba ne nfuuna olubuto naye nga asaba ssente nnyingi. Nnyamba ku nsonga eno.

Ssenga, nnaggyamu embuto 2 nga nkyali muvubuka, kati abasawo bagamba sikyasobola kuzaala, nsaba ku magezi
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

Mwana wange oba abasawo baakugamba nti enseke zaayonooneka, kitegeeza okufuuna olubuto kizibu ddala. Obuseke obwo obubiri bwe tulina buyamba okutambuuza eggi buli mwezi ne lituuka mu nnabaana.

Kaati enseke bwe zifa zombi kitegeeza eggi terisobola kutambula kuvaayo. Okufuna omwana balina kukozesa ssaayansi nga bakuggyamu amagi ne bagatereka olwo ne bafuuna eggi ly’omusajja ne bagagatta ne bateeka mu nnabaana wo.

Oyo eyakugamba nti asobola okukuyamba ayinza okuba ng’ayagala kukozesa ssaayansi oyo. Era abeera mutuffu bw’akugamba nti ssente zigenda kubeera nkumu.

Kubanga mwana wange okukola ekyo abasawo abasinga basaba okuva ku bukadde 20 kutuuka ku 30. N’abasawo abalala abatakozesa ssaayansi  gyebali. Kale olina okwegendereza musawo ki akuyamba kubanga abafere nabo bangi ddala.

Abawala balina okukimanya nti bw’oggyamu olubuto osobola okufuna amabwa mu buseke. Amabwa ago bwe gawona ofuna enkovu. Kati kubanga akaseke kafunda enkovu ezo ziziba obuseke. Era n’endwadde z’obukaba nga enziku bwe zikola.

Bw’owona enziku amabwa ago gafuuka nkovu era ne ziziba obuseke.  Oluusi abakyala abalina ebizibu mu nseke bafuna embuto ne zigenda mu nseke.

Kale baana bange mugezeeko nga bwe musobola okwewala okuggyamu embuto oba okufuuna endwadde z’obukabba.