Nze eno nnagiyise ‘anko’ ya kwekavvula kuba kirabika bboosi yannyumiddwa ebitagambika.
Oyinza okukkiriza nti ku lunaku olwokusatu nga tuli e Sausi, bboosi nnamuwulidde eyo ekiro mu ttumbi ng’alinga aloota wabula ebigambo nnabifunye matobotobo bwe biti “Sandra oba nnyinza ........za ntya olw’essanyu ly’omp.........eee.”
Mu kukomawo twafubye nnyo obuteerabisa mpozzi era nga bwe twakola mu kugenda olw’okwewala abateesi abayinza okutufuukira ekyambika.
‘Secretary’ wa bboosi yanneesimbamu dda n’okunneewerera okunkola ekikyamu!
Abantu ng’ono be twabadde twewala.
Mu wooteeri gye twasuze gye nnasanze amajjankunene; baanabawala bwe baayambadde obwereere. Omanyi waliwo bye ndaba mu makanisa n’ebifo awacakalirwa ne mbibaleetera, abazadde n’abalala okubamulisa ku bigenda mu maaso mu nsi. Ekirala engeri gye nazaala nafunamu omutima gw’obuzadde.
Mu wooteeri gye twasuze waabadde wategekeddwaayo akabaga ka ‘Birthday’ ng’abawala abaakabaddeko baabadde mu myaka wakati we 18 ne 23 nga bali n’abavubuka n’abasajja abakulumu.
We twabadde nga tulengera bulungi kumpi buli ekyabadde kigenda mu maaso.
Abawala mu kujja abasinga baabadde n’obugoye obwabadde ng’obukooti nga buwanvu ddala kyokka bwe baabuggyee ko nange we nabadde ne nnyongera okukanula amaaso neetegereze.
Bano baasigadde mu bugoye nga bbulawuzi zennyini ezaagasseewo ng’ebiteeteeyi!
Abalala baabadde beesaze ‘bu-top’ obwolesa kumpi buli ekiri mu kifuba ne busikaati obumpi ennyo.
Emyenge baabadde banywa gya bbeeyi ate nga kirabika mikambwe bulala.
Waliwo omuwala gwe baasitudde mu bbanga naye yandabikidde ng’ataabadde mu ‘kahwale’ wabula nga tafaayo ayongera kwesunda era bakira amakugunyu galigitira weru.
Omuwendo gw’abawala gwabadde basinga ku basajja ne mbirabamu engeri y’okuvuganya ani awangula omusajja.
Kino ndowooza kye nnalabye ng’okwambala obwereere. Oba nange nafunyemu ku buggya kuba nnalabye bboosi atunula tatemya kwe kumukwata ku mukono
ne twolekera ekisenge gye twabadde tulina okusula.
We twaviiriddewo ng’abasajja n’abavubuka bali ‘busy’ ng’engalo ziriko bye zitigiinya!