Kaboozi ki ako akakusanyudde mu katabo k’okutte?
Nnina ke mbadde nsomako wano, nnyumirwa nnyo okusoma ne mbaako ebipya bye mmanya.
Mbuulira ku linnya lyo?
Nze Angella Nakityo.
Angellah Ng'anyumidde Mu Kiteeteeyi Ekiddugavu N'ebimuli Ebimyufu.
Ka langi akamyufu kandabikidde bulungi, simanyi obeera Magere !
Nedda, si buli ayambala ebimyufu nti w’e Magere. Nze ndi w’e Kawempe.
Gye wafumbirwa?
Sirina mwami era sifumbirwangako.
Ofaananye abalina abababikka ekiro...
Be bafaanana batya abo?
Baba banyirira nga ggwe anti baba balina ababateekamu ssente.
Ffe abamu tweteekamu ssente ne tulabika bulungi.
Okola mulimu ki?
Nnina kkampuni yange ekola ebimuli, ebirabo era tukola sapulayizi mu baagalana.
Ggwe atali mu laavu, eby’abaagalana wabitegeera otya otuuke n’okubikolamu bizinensi?
Laavu ngiyingira essaawa yonna naye era okukola bye nkola tekitegeeza nti nnina okuba nga ndi mu laavu kuba era ne be nkolako abamu babeera bakolera ba ng'anda zaabwe oba mikwano gyabwe.
Naye gira tugire, obudde buggwaayo ojja kusanga abasajja abalungi tuweddewo
Nange ndi mukazi mulungi, anjagala ajja kujja essaawa yonna.
Nze nkubuzeewo?
Ggwe olabika oliko poliisi,tonkubya.
Tebabba mu kifulukwa...
Ku ‘gulaawundi’ biralamu, abakazi bakambwe ku baami baabwe.
Obudde bwo obw’eddembe obumalako otya?
Nneetwalako ‘out’ ne ndya ku ssente zange.
Bintu ki byotera okwettanira bw’oba ‘out’ ?
Layivu bandi myuziki, okulya n’okwekubya ebifaananyi.
Tegeka lunaku, olye ku zange..
Kye mmaze okulaba, oyagala banjiire asidi mwana ggwe.
Ky’ogamba tosobola kwagala musajja alina mukazi?
Sisobola kwagala musajja alina mukazi kuba ne bwe nkola ntya, aba tajja kuba wange.
Ebyo tubireke, tudde ku byokulya ebikuwoomera..
Ku nkoko kwe nfiira.
Baana mmwe oba enkoko mwagizuulamu ki?
Etuwoomera buwoomezi.
Kintu ki ekisinga enkoko obuwoomi?
Laavu.
Wakoma ddi okubeera mu laavu?
Ndudde, bammenyerayo omutima ne ngikoowa.
Baakukola kiki ekyo?
Oyagala ebyonoonese nkulabye.
Ha ha ha, ka nkusiibule
Weebale kunyumyamu nange CEO owa Pinkie’s Surprise Corner.