KIRABIKA mwana wange omusajja oli okyamwagala. Omwami waffe yang'ambye nti waliwo obubonero obulaga nga mukyali mwenna.
Oba ddala kino kituufu, kabonero kabi, ekyo kiraga nti tonnasalawo ate kiruma nnyo
omuntu yenna ng’akulaba oli mufumbo naye ng’olina akaasigalamu.
Omusajja oyo wadde wali omwagala naye mufumbo. Ebyo by’ogamba nti yali agenda kukufuula mukyala nnamba bbiri, ffe twabigaana ne kitaawo kuba twagala mpeta.
Omwami waffe ono yali yakwagala dda n’osalawo omwanjule era tutegeka mbaga ate ozunga na mufumbo!
Oba baana bange mu bwongo bwammwe mulimu ki? Omusajja yenna bw’aba nga yakwagalako takwagaliza basajja balala.
Era bw’amanya obunafu bwo atambulira okwo n’akulemesa obufumbo. N’ekirala, omwami waffe oba owulira tomwagala mugambe aleme kumala budde bwe.
Kuba mu kiseera kino eky’okutegeka embaga siraba lwaki ate okulembeza omusajja omufumbo kuba omusajja oyo alina okulaba ng’omukolo gwonooneka naye tagenda kukutwala.
Akusigula takugula... Abasajja abasinga basigala nga balina ebbuba ku bakyala be bakyawa.
Naye nga tekitegeeza nti akwagala wabula takwagaliza mulala. Kati olina okukozesa obwongo n’osalawo ekituufu. Oba ddala omusajja omufumbo n’abaana asobola okukufuula omukyala nnamba bbiri, yakwagalira emyaka 5 naye ng’omukwano gwammwe gwa kyama.
Lwaki atya okukulaga abantu be? Olowooza embeera eyo egenda kukyuka? Abadde akusuubiza naye nga tasalawo era yakugaana n’okuzaala. Gwe teweebuuza lwaki? Tayagala kuswaza maka ge naye ayagala okwonoona
obulamu bwo obw’omu maaso.
Omusajja oyo omufumbo, mukulu akusinga amagezi era kati akozesa magezi okwonoona obufumbo bwo Mwana wange tuuza nniya.
Oba ddala ono omwami waffe gwe wayanjula tomwagala ekyo nakyo kitugambe tuleme
kumala budde bw’abantu era naawe kumala budde bwo.
Kiswaza bw’oyingira obufumbo ate n’obuvaamu mangu. Ate era si kirungi kuyingira bufumbo ng’omusajja tomwagala.
Ennaku zino mwansobera mulaba kumpi. Oyinza okuba ogeerageranya ono gw’olina ku oli omufumbo mu bya ssente n’otomanya nti omufumbo musajja mukulu, amaze emyaka mingi ng’akola.
Omwami waffe muto, akyali mu kwezimba ate nga naawe, obadde odibidde ku luggya kati alabye nga bakutwala, n’azuukuka akusuuze omwami.
Bawala ennaku zino mwagala nnyo ssente era mujja kudiba nnyo. N’omwami waffe alabika omutima gugenda gukoowa. Akooye obulimba bwo. Kasita ffe tukubuulidde ekituufu.