Simoolo sirenda...., oli bulungi?
Ndi bulungi nga bw’ondaba, sirina buzibu bwonna.
Entunula yonna kyekyo...
Tobimanyi? Omwaka gwakatandika tulina okubeera abasanyufu.
Otyo...
Ate era tulina n’okufuba okulabika obulungi, omwaka gutwanguyire. Abakyala, mujje tubanyirize..
Simanyi okola gwa kunyiriza bakyala?
Oli mu ansa okuutiza.
Okikola otya?
Mbasiba obuviiri obuliko ne bashanana. Anti enviiri, kitiibwa ky’abakyala ne Bayibuli ekyogera. Nze buli mukyala mmukubiriza okwefaako ng’atandikira ku mutwe, ppaka ku kagere ka nnasswi.
Vero Mu Kateeteeyi Ng'anyumye.
Nti era ebyo byonna naawe osobola okubikola?
Nze nakuguka mu kunyiriza mitwe, abalala nabo ne bakola ku birala. Osangayo oli, nga ye mukugu mu kukkakkanya olususu ne luboobera. Bakyala, omwaka guno twemanyiize ku bintu bino ebitukkakkanya ku birowoozo tumalewo eby’okutunula situleesi enjereere.
Ye kaviiri ki akaliko kati?
Obuviiri bungi. Naye ababadde tebakimanyi kambategeeze nti omulembe gw’okusiiba mu ssaaluuni gwaggwaawo era kati abakyala basiba nviiri nnyangu ate nga za mulembe.
Mpaayo akaviiri kamu, abasomi ba Bukedde ke bayinza okusiba
Abaasiba enviiri za Ssekukkulu, baatabukira nnyo akaviiri ke bayita ‘coco’.
Ako bakakola batya?
Kaba ka kutungirako ate tekaboola. Bakasiba mu bumpi kyokka ne mu biwanvu bw’oba bw’oyagadde kasoboka.
Mpa amannya go
Nze Vero Nakiwala wabula olumu nneeyita ‘Vero Babies’
Vero Babies bye biki?
Lino lya bantu abamanyi emitimbagano era ndikozesa ku Tik-Tok.
Siba nga ntudde ne ssereebu?
Ate omulembe gunaaleka ani emabega? Tulina okutambula nagwo nga tumanyika.
Mbu wamma, abawala b’omu ‘Kiteezi’, bamanyi okukuba bakasitoma be bafuna ebiraka ne batabanyiriza?
Nze siri wa mu ‘Kiteezi’, nafuna ekifo eky’enkalakkalira mwe nteeka bakasitoma bange era ne mbakolako ne banyirira.
Kiki ekisinga okukusoomooza ku mulimu gwo?
Kasitoma bw’ansuubiza okujja okumukolako n’atalabikako.
Awo n’okola ku balala?
Ssente z’oyo ansuubizza, mba nazibaze dda nga ndi ku ‘sure’ nti ajja. Bw’atalabika, mba mmanyi nti oba waliwo amupaazizza, anti abasiba enviiri tuli bangi.
Kati okikola otya okwekuumira bakasitoma bo?
Ggwe musibe ekisingako obulungi osirike, ajja kudda akunoonye.
Singa ntuuka mu ssaaluuni nga simanyi kyakusiba?
Bangi be tusiba nga bazze tebamanyi kye baagala era abamu balaba ku be tusiba mu ssaaluuni oba okumulaga be twakuba ebifaananyi mu ssimu, n’alondako ky’ayagadde. Nange mmutunuulira ne mmanya ekimunyumira.
Mbuulira ku kirooto kyo mu mulimu guno .
Njagala okukola saaaluuni gaggadde eyange wano mu Kampala.