Gayaza High School ekutte omumuli mu kutaasa obutonde bw’ensi

MU Kaweefube ow’okutaasa ensi, aba Gayaza High School (GHS) bakulembeddemu okukendeeza ku bintu ebikosa obutonde bw’ensi.

Gayaza High School ekutte omumuli mu kutaasa obutonde bw’ensi
NewVision Reporter
@NewVision
#Green schools #Butonde bwa nsi #Masomero #Gayaza

MU Kaweefube ow’okutaasa ensi, aba Gayaza High School (GHS) bakulembeddemu okukendeeza ku bintu ebikosa obutonde bw’ensi.

Si mu ssomero lyabwe mwokka wabula ne mu masomero amalala ssaako ebitundu by’omu Town Council y’e Kasangati. Abayizi Ba Gayaza High School Nga Balaga Ebisero Bye Bakola Mu Bucupa Bwe Bakung'aaya.

Abayizi Ba Gayaza High School Nga Balaga Ebisero Bye Bakola Mu Bucupa Bwe Bakung'aaya.

Gayaza High School ly’essomero ly’abawala erisinga obukadde mu Uganda nga lyatandikibwawo Abaminsane ba Church Missionary Society oluvannyuma abaatandikawo Ekkanisa ya Uganda, okutuusa leero likyeriisa enkuuli n’abayizi abasoba mu 1,400 abajjudde ensigo y’okutaasa obutonde.

Essomero bye likola okutaasa obutonde bw'ensi ;

.Okukola ebisero ebisuulibwamu kasasiro mu bucupa

Angella Ikiriza S3, eyannyonnyodde ku ngeri gye bakola ebisero bya kasasiro mu bucupa yagambye nti mu kifo ky'okwokya obucupa buno obuvaamu omukka ogw'obulabe, bafuna omwoki w'ebyuma n'abookera obuuma mwe bayingiza obukebe 100 ku buli kisero nga bamaze okubusala.

Pulojekiti eno ewagiddwa eggwanga lya Sweden

Pulojekiti eno ewagiddwa eggwanga lya Sweden

Bakola ebisero omukung'aanyizibwa kasasiro nga obuveera, obucupa n'ebirala ekikuuma essomero nga liyonjo ng'ate essomero terisaasaanyizza ssente kugula bisero (Dust Bin) bino.

Baagala okubunyisa enjiri eno ne mu masomero amalala agabaliraanye kubanga obucupa bungi omuli obw'amazzi n'obwa soda.

"Okutaasa obutonde bw'ensi n'enkyukakyuka y'embeera y'obudde tukiraba nga buvunaanyizibwa bwa buli omu obulina okutandikira ku ffe, so si kulinda Gavumenti oba ekitongole kirala kyonna. Buvunaanyizibwa bwa buli omu ku ba ffenna twagala obulamu." Ikiriza bw'agamba.

Abayizi Ba Gayaza Church Of Uganda Primary School (kadongo) Nga Bakutte Emiti Egy'okusimba Oluvannyuma Lw'okusomesebwa Aba Gayaza High School.55

Abayizi Ba Gayaza Church Of Uganda Primary School (kadongo) Nga Bakutte Emiti Egy'okusimba Oluvannyuma Lw'okusomesebwa Aba Gayaza High School.55

Okulimira awafunda

Abayizi ba Gayaza High School balina ennimiro ey'okulimira awafunda (urban farming) mwe balimira ebintu nga enva endiirwa, obutungulu ennyaanya n'ebirala. 

Abayizi okuli Charity Sharon Walube ne Edith Asio abakulembera bannaabwe mu nnima eno bagamba nti bakozesa ebintu bya bulijjo ebyandibadde ebitakyali bya mugaso era ebyobulabe eri obutonde ne babiteekamu ettaka omukulira ebimera.

Muno mulimu ebintu ng'ebikebe eby'ebyuma n'ebya pulasitiiki kw'ossa ebiveera ebigumu.

Asio agamba nti muno bafunamu emmere ng'ate bataasizza obutonde. Agamba nti ne bannaabwe bayigiramu ennima eno gye batwala n'awaka naddala ababeera mu bibuga awatali ttaka ddene lya kulimirako. 

Akulira Ebyokulima N'okulunda Ku Gayaza High School, Patrick Muhinda N'abayizi Mu Nnimiro Yaabwe Ey'okulimira Awafunda.

Akulira Ebyokulima N'okulunda Ku Gayaza High School, Patrick Muhinda N'abayizi Mu Nnimiro Yaabwe Ey'okulimira Awafunda.

Bano nga bayambibwako 'farm manager' Patrick Muhinda basuubira okwongera ku nnimiro yaabwe nga ba kubajja ekiti ekyakula nga kkabada ennene bateekemu n'amasa ag'enjawulo nga mwe batuuza ebirime.

Ku nnima eno era baggulawo n'ekibanja (Website) ku mutimbagano abantu abalala kwe bayinza okulayigira ogwa: Savor the Flavouring of Green nga guddukanyizibwa bayizi bano.

Abayizi Ba Gayaza High School Mu Kusimba Emiti.

Abayizi Ba Gayaza High School Mu Kusimba Emiti.

Okukola Biogas

Aba Gayaza High School bakola ne Biogas ekitaasa obutonde bw'ensi mu ngeri nnyingi ate ne bafuna ne ggaasi gwe bafumbisa ebintu nga caayi w'abayizi, enva entonotono, okusiikirako ebyokulya by'abasomesa n'ebirala.

Esther Queen Ndagano S3, yannyonnyodde bwe bakola ggaasi ono okuva mu busa bw'ente ezirundibwa ku ffaamu n’ategeeza nti ataasa okusaanyaawo obutonde bw'ensi nga batema emiti okufuna enku ez'okufumbisa.

Bio Gas Akolebwa Ku Gayaza High Nga Balaga Bwe Bamufumbisa.

Bio Gas Akolebwa Ku Gayaza High Nga Balaga Bwe Bamufumbisa.

Agamba nti okusinziira ku kunoonyereza kwa bannassaayansi, obusa kye kimu ku bintu ebivaamu omukka omubi ogwa 'Methane' ogw'obulabe eri empewo gye tussa nga gwe baggyamu ggaasi afumba, ebisigaddewo ne bizzibwa mu nnimiro okukola ng'ekigimusa.

Abayizi Ba Gayaza Church Of Uganda Primary School (kadongo) N'aba Gayaza High School Mu Kusimba Emiti.

Abayizi Ba Gayaza Church Of Uganda Primary School (kadongo) N'aba Gayaza High School Mu Kusimba Emiti.

Okubunya enjiri mu masomero amalala n'ebitundu mwe gali

Mu buli ssomero gye balaga bayigiriza bannaabwe enkola entuufu ey'okukung'aanyaamu ebintu ebikozesebwa ne bifuuka ebyobulabe eri obutonde nga batera n'okuteekawo okukubaganya ebirowoozo ku nkola ennyangu ez'okutaasa obutonde bw'ensi. Bano ne ku lunaku lw'abakyala olwabaddewo ku Lwokusatu baakoledde wamu n'obukulembeze bwa Kasangati Town Council okukola bulungibwansi.

Okusimba emiti

Bw'otuuka e Gayaza, oluggya lw'essomero lubunye emiti kw'ossa okwetooloola ekisaawe nga balinawo n'ettaka okujjudde emiti kye baakazaako erya Greenland.

Omusomesa Niyirinda agamba nti bakolera wamu n'ekitongole ky'ebibira ekya National Forestry Authority ekibawa endokwa z'emiti omuli egireeta ekisiikirize n'egyebibala.

"Emiti egy'ebibala giriisa ensi ate nga gitaasa n'obutonde nga gikozesa omukka ogwandibadde ogw'obulabe eri ebitonde ebirala nga abantu n'ebisolo." bw'agamba.

Pulojekiti ewaggiddwa aba FAO

Pulojekiti ewaggiddwa aba FAO

Bano enjiri y'emiti tebagikomezza mu GHS mwokka wabula bakoze n'amasomero agabaliraanye ne batwalayo kampeyini z'okusimba emiti n'okubayigiriza okugirabirira mu masomero nga: Gayaza Church Of Uganda P/S (Kadongo), Atlas High School Gayaza ne Our Lady of Good Counsel S.S.S Gayaza.

Abayizi Ba Gayaza Church Of Uganda Primary School (kadongo) N'aba Gayaza High School Nga Basimba Emiti2

Abayizi Ba Gayaza Church Of Uganda Primary School (kadongo) N'aba Gayaza High School Nga Basimba Emiti2

Balina emitimbagano kwe basomeseza ku butonde

Aba Gayaza High School baggulawo n'emikutu ku mitimbagano kwe basomeseza abantu bonna ku kabi ensi k'eyolekedde olw'enkyukakyuka y'ombeera y'obudde n'okwonooneka kw'obutonde bw'ensi mwe baweera n'amagezi ku bantu bye balina okukola okutaasa embeera.

Emikutu gino mulimu: Ekibanja (Website) ekya Tree Planting in Gayaza High, kw'ossa ogwa 'Girls Against Climatic Change' ogusangibwa ku kibanja kya 'Instagram' ogwettanirwa ennyo abavubuka. 

Omusomesa akulira pulojekiti ya Green Schools e Gayaza, Theode Niyirinda agamba nti ebadde nnono ya ssomero okukuuma obutonde bw'ensi n'okuteekawo ebiragiro ebikugira abayizi okwonoona obutonde okuviira ddala mu kutondebwawo kw'essomero lino. 

Akulira Pulojekiti Ya Green Schools E Gayaza, Theode Niyirinda N'abayizi Be Mu Kampeyizi Z'okutaasa Obutonde Bw'ensi.600

Akulira Pulojekiti Ya Green Schools E Gayaza, Theode Niyirinda N'abayizi Be Mu Kampeyizi Z'okutaasa Obutonde Bw'ensi.600

"Essomero lino lyazimbibwa ku musingi gw'okubeera mu kifo ekiyonjo n'obutayonoona butonde bw'ansi nga kino tukizimba mu bayizi ne kibeera kitundu ku bulamu bwabwe era abazadde bangi bazze bakiwaako obujulizi nti omuyizi asomedde wano, obutonde obutwala nga kikulu.

Kuno kwe tugatta amateeka g'essomero agalina okugonderwa buli muyizi nga tuyambibwako abakulembeze baabwe era tulina ebisero ebikung'aanyizibwamu ebintu ng'obucupa mu bunyomero obw'enjawulo obukung'aanyizibwa abayizi obumu ne tubaako bye tubukolamu obulala waliwo omukozi waffe abutwala ne babusaanuusa okubukolamu ebirala ne yeefunira ku ssente." Bw'agamba.

Aba Gayaza High School Nga Balaga Ennimiro Yaabwe Ey'okulimira Awafunda Mwe Beeyambisa Ebintu Ebyandyonoonye Obutonde Bw'ensi Ne Bafuna Emmere.

Aba Gayaza High School Nga Balaga Ennimiro Yaabwe Ey'okulimira Awafunda Mwe Beeyambisa Ebintu Ebyandyonoonye Obutonde Bw'ensi Ne Bafuna Emmere.

.Agamba nti n'abayizi bangi bava mu maka ag'ebikomera nga tebalina we bakwataganira na bantu ba bulijjo, nga guno guba mukisa gye bali okumanya obulamu bwe butambula mu bulamu obwa bulijjo mu bantu ba wansi.

Annyonnyola nti abayizi olumala okusimba emiti mu ssomero gye baba bagenze beeyongerayo mu katawuni akaba kaliraanyeewo ne bakola bulungibwansi nga bali wamu n'obukulembeze bw'ekitundu.

Mu nkola eno basomesa abantu ba bulijjo ku bulabe obuli mu kusaanyaawo butonde bw'ensi n'okumansa kasasiro n'okubakuutira okwokya ebintu ebikosa obutonde naddala ettaka.

Abayizi Nga Basunda Amazzi Ku Nayikondo Ya Gayaza Church Of Uganda Primary, Okufukirira Emiti Gye Basimba.

Abayizi Nga Basunda Amazzi Ku Nayikondo Ya Gayaza Church Of Uganda Primary, Okufukirira Emiti Gye Basimba.

We batuuse

Agamba nti okutaasa obutonde kyafuuka kitundu ku bawala b'e Gayaza kubanga ne bwe baba bagenze okwetaba mu mizannyo n'amasomero amalala, be bakulemberamu okuyonja ebisaawe ng'emizannyo giwedde ekintu ekitera olwewuunyisa ababa bazze okulaba emizannyo.

Agamba nti Ekibiina kya 'Green Schools kirina bammemba ab'enkalakkalira abasoba mu 60, kyokka n'abayizi abalala babeegattako nga bakola kubanga bamanyi obulungi obuli mu kutaasa obutonde. Agamba nti okusinga bammemba ba mu bibiina ebya wansi okuva mu S2, abava wansi nga bategedde ekyokukola olwo ne bayigiriza bannaabwe ku ssomero n'awaka ne mu masomero amalala.

Omuyizi Esther Queen Ndagano (s3) Ng'annyonnyola Ku Ngeri Bio Gas Gy'akolamu.500

Omuyizi Esther Queen Ndagano (s3) Ng'annyonnyola Ku Ngeri Bio Gas Gy'akolamu.500

Kyokka agamba nti ba kwongera okusomesa abantu ba bulijjo n'abayizi mu masomero amalala kw'ossa okusimba emiti kubanga omukisa gw'okufuna endokwa gukyaliwo n'abantu bangi abatannategeera nti okutaasa obutonde buvunaanyizibwa bwabwe.