ST Kizito High e Namugongo eraze byekoze mu bukadde 12 zebaawangula mu pulojekiti ya Green Schools nga baagulamu ebyuma ebikaza amawolu ne bakola emmere y’enkoko ne bisolo.
Essomero lino lyawangula ssente zino omwaka oguwedde , bwe ly'etikka engule ya masomero ag’enyigira mu mpaka za “Green Schools” etegekebwa Kkampuni ya Vision Group efulumya ne Bukedde nga bali wamu ne kitongole ekivunanyizibwa ku bye mmere mu nsi yonna ekya FAO ne Embase ya Sweden
EKIRUBIRIRWA KYA SSENTE EZAWANGULWA
Florence Nambejja Kikomeko nga ye kayungirizi we bikwata ku pulojekiti ya Green schools mu somero agamba nti bwetwafuna ekirabo kino twasalawo okwongera tekinologiya mu pulojekiti z’okukola emmere ye nkoko .
Abaana nga balaga ebyakolebwa mu ssente za Green School
Twasalawo okwongera omutindo ku mawolu n'ebisigalira bye mmere abayizi gye basuula ,tusobole okukolamu emmere ye nkoko ne bisolo ebirala esobola okukuumibwa okumala ebbanga nga teyonoonese .
Twagula ebyuma bisatu ebikozesa tekinologiya ow’enjawulo okukaza amawolu ne bisigalira by’emmere esuulibwa abayizi ku somero .
Twalina ekigendererwa kya kukendeeza ku nsasaanya yaabwe nga bakendeza ku mmere gye bagula okugabirira enkonko ne bisolo bye balunda naddala mu biseera abayizi nga bali mu luwummula.
Emmere gyebakola mu mawolu , abayizi ge basula bagyekumisa ebiseera abayizi bwe batabawo ku somero kubanga tewabeera mmere effikira.
EKYUMA EKIKOZESA EBBUGUMU LYE FFUMBIRO
Nambejja agamba nti ekyuma ekisooka kyayungibwa nga kikozesa bbugumu erivudde obutereevu mu ffumbiro okukaza amawolu .
Kirina tekinologiya ayunga payipu etambuza ebbugumu okuva mu sitovu kwebafumbira mu ffumbiro ne lituka mu kyuma kino ekikaza amawolu . Ekyuma kino era kirina ekifo ekirala wansi we bakozesa amanda nga kikola lwe bagadde omuliro omungi ddala .
Abaana nga balaga ebyakolebwa mu ssente za Green School
AMAANYI GENJUBA
Ekyuma eky’okubiri kikozesa maanyi g’enjuba . Kino bakiteeka mu musana ku ma bbali ne bazingirizaako obuveera obuyambako obutayingiza musana buterevu mu kyuma ekikaza .
Ekyuma kino nakyo kirimu amaasa ag’enjawulo agasengekebwamu ebintu ebyenjawulo ebikaala . EBYUMA EBIKUBA EMMERE
Ebyuma birala bibiri nga bikola omulimu gwe gumu gwa kumementula amawolu agakaziddwa okufuka obuwunga obugabirirwa enkoko n’ebisolo . Ebyuma bino byanjawulo ng’ekimu kikuuba mmere ekaziddwa ,ekirala kitekebwamu amawolu nga bwegakunganyiziddwa ne baganyiga . a .
BEZZEEYO MU MPAKA
Ezekiel Kazibwe nga ye mukulu we ssomero lino agamba nti bazzemu okwetaba mu mpaka zino eziyinda omwaka guno era bataddeyo pulojekiti zabwe ez’okukaza amawolu okulaba ng’ekirabo baddamu okukiwangula basobole okugaziya pulojekiti zabwe endala .
Agamba nti pulojekiti y’okukola amanda mu kasasiro ye yabawanguza nga bagitandika mu 2013, ekyagoba enkola y’okukozesa enku mu somero lyabwe