Disitulikiti ya Nakasobola y’emu ku zimanyiddwa mu Uganda enkalukalu era era ezitera okulumbibwa ekyeya noolwekyo eri abatuuze n’abayizi obutonde kikulu ddala.
Ekitangaala Transformation High School - Nakasongola, ssomero eryetooloddwa emiti era nga obutonde bw’ensi nabwo basaale mu kubukuuma.
Abaana Nga Bavuganya Mu Misinde Wansi W'ebisiikirize Ebisiige,
Goodman Akandwanaho, y’akulira pulojekiti y’okukuuma obutonde (Green Schools Project) mu ssomero lino agamba nti essomero lino lyatandikibwawo Munnayuganda naye Omumerika ayitibwa Tim Bluter nga lisangibwa ku kyalo Ekitangaala mu ggombolola y’e Kakonge mu Muluka gw’e Kyeyindula mu disitulikiti ya Nakasongola.
Okuva mu kibuga wakati waliwo kkiromita 11 okutuuka ku ssomero lino, nga lya bawala n’abalenzi era baweza abayizi 750 okuva ku muwendo ogwali omutono ddala mu ntandikwa.
YALI FFAAMU YA NTE
Essomero nga terinnatandika yali ffaamu ya mutuuze nga ya nte, era bwe baatandika okulizimba obuti bwonna obwasangibwamu baasooka ne babukuulamu ne basimbawo emiti emirala kati egy’omugaso ennyo ku ssomero lino.
Tegikoma ku kukwata kibuyaga wabula girabisa bulungi essomero naddala mu budde bw’enkuba kuba gibeera gya kiragala mwereere.
Emiti Mu Ssomero Lino Oluusi Gikosebwa.
OMUKULU W’ESSOMERO YE YATANDIKA PULOJEKITI
Mu kusooka twali pulojekiti eno tetugimanyiiko, naye omukulu w’essomero Emmanuel Bwanga, be bamu ku baasooka okubangulwa, oluvannyuma yajja naffe nagitubuulirako n’atugamba tuwandiike tusobole okwetaba mu mpaka. Bwe twasaba ne batuddamu nti, okusaba kwaffe kukkiriziddwa ne batuyita ne batubangula era ne twetaba mu mpaka.
ABAYIZI BEENYIGIDDEMU
Abayizi beenyigidde mu kaweefube ono. Ngy'oggyeeko okusimba emiti, omuddo n’ebimuli, abayizi pulasitiika n’obuveera bwe babukuηηaanya tebakyabwokya wabula babutereka nga bwe bunaawera baagala bakolemu ebintu eby’omugaso ebirala nga biwerako ate nga bivaamu ne ssente ezeegasa.
BALIRAANWA BATUYIGIDDEKO
Wadde nga si mulimu mwangu ku basomesa, naye abasinga batukoppye era bangi basimbye emiti kubanga bagitegedde nti, kye kimu ku bintu ebiyinza okugoba ekyeya mu Nakasongola. Era mu maaso tulina enteekateeka ey’okugabira abayizi emiti bagende bagisimbe mu maka gaabwe nga kino tusuubira kukikola nga olusoma terunnaggwaako.
Abayizi Ba Green Club Pulojekiti Nga Beekubya Ekifaananyi.
Kati omusana ne bwe gubeera mungi tubifukirira ne bisigala nga tebikoseddwa musana. Ekirungi ne nnannyini ssomero muntu ayagala ennyo kiragala era atuwagira ku buli nsonga gye tumutunuzaamu.
OBUZIBU BWE BASANZE
Olw’ensonga nti, ekitundu kino kikosebwa nnyo omusana, emiti emikadde omusana bwe gugiyitamu enkuba bwetonnya egimu gimenyeka gyokka ne gigwa emirala ne gikuba ebizimbe ekintu ekitutaataaganyaamu.
Ekirala abatuuze bamanyi okukola obukubokubo mu kibira kyaffe ne balinnyirira emiti gyaffe emito n’okumenya emirala.
PULOJEKITI YAAKUBEERAWO LUBEERERA
Ng’oggyeeko abantu abayingira obuyingizi mu mpaka zino olw’okwagala okuwangula, ffe twasangibwa kaweefube tumuliko era tetugenda kussa mukono nga tugenda kumutambuza ku buli mugigi ogunaddawo. Tuwa obutonde ekitiibwa era okubukuuma obutiribiri kiri mu ffe ffennyini.