St Peters SSS Nsambya, wadde essomero lyabwe liri mu kibuga wakati era nabo okukuuma obutonde tebakusudde muguluka.
Bakikola nga bettanira okusimba emiti, ebimuli n’omuddo era buli awali akabangirizi bataddewo kiragala era nga kyeyoleka waakalituukako.
Essomero nga bwe lifaanana mu kiragala alabika obulungi.
Mw. Joseph Kiwanuka ne Godfrey Musoke bannyonnyola ebikwata ku ssomero lino:
St Peters sss Nsambya lyatandika mu mwaka gwa 1907, aba Mary Hill Missionaries nga lyatandikibwawo Bishop Henry Amnom. Lyatandika lya pulayimale oluvannyuma ne bongerezaako ne siniya.
Mu kusooka nga essomero lino terinnazimbibwawo lyali ttaka lya Buganda era kyali kibira omujjudde emisambya. Kabaka Mwanga ye yaliwa aba Klezia.
Lyatandika na balenzi bokka nga baali baagala ab’okusomesa eddiini n’okuyambako okukola emirimu gy’Abaminsane emirala. Oluvannyuma baatandikawo ne siniya wadde nga yasooka kubeera Nsambya High School.
Abayizi ba Green schools project nga balaga ebintu ebimu bye bakola mu kasasiro.
Mu 1983 lyafuuka erya gavumenti nga liyambibwako omu ku bayizi abakadde Paul Muwanga eyali amyuka pulezidenti mu kiseera ekyo.
Mu kiseera kino lirina abaana 2,200, era nga emiti emikulu egiyitibwa Acacia Black Heart egisangibwaako gyonna gyasimbibwa nga migumu era wakati waagyo middugavu.
Gyaleetebwa Abaminsane n’ekigendererwa eky’okukuuma obutonde bw’ensi era naffe tugikuumye bulungi.
Akulira Green school pulojekiti, Sarah Nambi omusomesa wa Geography bino by'atunnyonnyodde ku pulojekiti ze baliko:
Ku St Peters, pulojekiti yaffe twagituuma Green Spensa, Green Uganda olw’ensonga twatandika tulina obuzibu bw’ekifo ate nga tetwagala kuva ku mugendo gwa kukuuma butonde.
Twasala buli we tusobola awali ebbanga ne tusimbawo omuti oba ebimuli, ebimu tubiteeka na mu bikebe, ebirala tubiteeka mu bideeya nga tutaddemu ettaka.
Omufumbi ng'alaga ekyoto ekikekkereza ekikolera ku maanyi g'enjuba.
Okufuula kasasiro ow'omugaso kimu ku bye tutunuulira.
Olw’okuba abayizi bangi ne kasasiro tufuna mungi era we tumukuhhaanyiriza tuggyamu gwe tusobola okukolamu eby’omugaso, ebirala waliwo abantu abatwetoolodde be tumuwa, ebitalina mugaso emmotoka okuva ku KCCA zijja ne zimutwala.
Twayongerako n’okusimba emiti egy’ebibala era kati gye gisinga obungi. Gino gituwa ekisiikirize, ebibala abaana bye balya, ate n’okukwata kibuyaga olw’ensonga nti, wano tuli ku lusozi.
Ekyo bwe twakimala twatandika okukekkereza enku ze tukozesa ku ssomero nga tuzimba ebiyungu oba sitoovu ezikolera ku maanyi g’enjuba okwo kwe tugattiriza enku entono ddala. Era effumbiro lyaffe terifulumya mukka ate nga tukekkerezza kinene.
Ekirala twafuna engogo era amazzi gonna gakuhhaanira mu ttanka ne tugakozesa mu budde bw’ekyeya okufukirira kiragala waffe, n’essomero okugakozesa ne likendeeza ku nsaasaanya.Twatandika n’okulima enva endiirwa era ng’abayizi be bazirima ate be bazeeliira.
Okusoomoozebwa
Wadde nga tukuuma obutonde ate kituviiramu okusoomoozebwa, anti ku musana tulina okufukirira olwo ab’ekitongole ky’amazzi ne baleeta omuwendo gwe babanja nga guli waggulu.
Ekirala, abayizi eby’okukuuma obutonde abamu tebabitegeera, weesanga nga musimbye leero ebimuli ate enkeera bo bennyini ne babikutula. Abalala tebakkiriza bibala kukula, mu masomo agamu bwe babatuma ebikoola ate ebyaffe bye twasimba bye bakozesa okusoma.
Enkuyege zitutaataaganya naddala ku muddo gwe tubeera twakasimba, ebimuli n’emiti.
Abatwetoolodde pulojekiti baagitegeera era ne bagikoppa
Nga bwekiri nti, abayizi bangi mu ssomero lino, kasasiro yenna asobola okuvaamu eby’omugaso ebirala tetusobola kumumalawo.
Omulala abantu abatwetoolodde bamunona ne bakolamu ebintu eby’enjawulo nga n’abamu ffe twabayigiriza bye bamukolamu. Tetukomye awo, tuli mu nteekateeka za kugaba ndokwa za miti ku baliraanwa baffe.
Pulojekiti ya kubeerawo lubeerera
Buli mugenyi ow’amaanyi akyala ku ssomero lino aleka asimbye omuti. Era waliwo n’ogwa maama Janet Museveni gwe yasimba mu 2016
nga kati guteekako n’emiyembe.