Abayimbi ba myuziki ekika kya Hip - Hop, beegasse okusitula ekika ky’endongo yaabwe.
Bano kuliko; GNL Zamba, MunG, Racheal Ray n’abalala era baasinzidde mu lukung'aana lwa bannamawulire lwe baatuuzizza e Nakasero ne boogera ku bukulu bwa myuziki wa Hip-Hop.
Okwongera okunnyikiza endongo eno, aba Swahil Nation Africa baakukuhhanya abayimbi aba Hip-Hop abato n’abakulu babakolere ekivvulu eky’okubaawo nga June 28, 2025 e Lugogo ng’ejja kuba ndongo ya Hip-Hop layivu, okulaga emisono gy’abalaasi n’amazina ssaako ba Dj ab’amaanyi.