Pasita Ssempa akyevuma abaamubbye amatooke

PAASITA Martin Sempa, agudde mu bavubuka abakola eggaali na banyaga abantu, na kati abeevuma. Omukulu ono, yeeyogerako nga omulimi era agamba nti abakozi be baabadde bava ku ffaamu ye e Nakawuka nga ku mmotoka batisseeko amatooke bagamutwalire. 

Pasita Ssempa akyevuma abaamubbye amatooke
By Musa Ssemwanga
Journalists @New Vision
#Matooke #Ssempa #Kwevuma #Matoke

PAASITA Martin Sempa, agudde mu bavubuka abakola eggaali na banyaga abantu, na kati abeevuma. Omukulu ono, yeeyogerako nga omulimi era agamba nti abakozi be baabadde bava ku ffaamu ye e Nakawuka nga ku mmotoka batisseeko amatooke bagamutwalire. 

Tebamanyi bavubuka bakozi ba ffujjo gye baavudde, ne bayiika ku mmotoka ne baggyamu amatooke ge gonna.

Ng’asinziira ku mikutu gye egya yintanenti, Paasita Ssempa yalumirizza abavubuka abakola obubinja mwe batambuliramu bwe baakazaako erya eggaali, ng’oluusi banyaga abantu ku makubo. 

Era yakoonye ne linnya ly’omuyimbi omu, nti kyandiba ng’eggaali ye ye yabbye amatooke ge.