Shamim Malende ne bba Eid bagikutte n'omuyimbi Evelyn Love

OMUBAKA omukyala owa Kampala, Shamim Malende Eid y’omulundi guno asazeewo okugirya n’omuyimbi Evelyn Love abamu gwe bamanyi nga Evelyn Lagu.

Shamim Malende ne bba Eid bagikutte n'omuyimbi Evelyn Love
By Ignatius Kamya
Journalists @New Vision
#Kasalabecca

OMUBAKA omukyala owa Kampala, Shamim Malende Eid y’omulundi guno asazeewo okugirya n’omuyimbi Evelyn Love abamu gwe bamanyi nga Evelyn Lagu.

Ono olwamaze okusaala ne yessa mu ddene n'ayolekera e Bujuuko mu maka ga Evelyn okumulambulako kw'osa n’okumuzzaamu amaanyi.

Shamim Malende n'omwami We Bwe baabadde Bali Ewa Evelyn Lagu Gye baagenze Okumulabako.

Shamim Malende n'omwami We Bwe baabadde Bali Ewa Evelyn Lagu Gye baagenze Okumulabako.

Malende ng’ali wamu ne bba baamutwalidde ebintu okubadde amatooke, enkoko, ssukaali n’omuceere n’ebbaasa ennene era ne bamwebaza okwefaako newankubadde nga mulwadde.

Malende agambye nti ku nnaku nga Iddi abantu tebasaanye kulya bokka wabula ate n’okudukirira abo abali mu bwetaavu oba abayita mu kaseera ak’okusoomozebwa nga ye nsonga lwaki yasazeewo okugenda amulambuleko.

Ebimu Ku Bintu Bye baamutwalidde.

Ebimu Ku Bintu Bye baamutwalidde.

Evelyn abeebazizza olw’okumulowoozako kyokka n'amusaba engeri gye kiri nti ali mu Palaamenti aboogerereko eri abakulu balekere awo okubasasuza ekyuma ekikebera obulwadde kubanga kibakalubirizzaamu.