Hajji Haruna Kitooke tasaagira mu mirimu gimuwa ssente! Okuwaata emmere ya bakasitoma be takirinaamu buzibu

HAJJI Haruna Kitooke nnannyini Kream Productions bwe bituuka ku mirimu egimuwa ssente eby’okwekuluntaza by’asooka okuteeka ku wa bbali!

Hajji Haruna Kitooke tasaagira mu mirimu gimuwa ssente! Okuwaata emmere ya bakasitoma be takirinaamu buzibu
By Musasi Bukedde
Journalists @New Vision
#Kasalabecca #Hajji Haruna Mubiru

Omukulu ono twamuguddeko mu kifo kye ekya HM Restaurant w’atundira emmere ng’ali mu kuwaata matooke.

Bwe twamubuuzizza lwaki akwata mu masanda ng’ate alina abakozi n’ategeeza nti emirimu egimu omuntu olina okugyekwatiramu bw’oba oyagala bizinensi yo etambule bulungi.

Hajji Haruna bw'afaanana.

Hajji Haruna bw'afaanana.

Era agamba nti ayagala kulaga abakozi be nti buli kimu asobola okukyekolera nga bwe bagezaako okumutawaanya oba okumwecangirako teyeekubagiza nnyo. 

Kyokka yategeezezza nti n’abakozi abo nabo bantu era bakoowa nti talaba nsonga lwaki tabayambako okwanguya kubanga obudde buba bugenze. 

Ow’olugambo waffe atugambye nti wooteeri eno Kitooke yagitandika kwongereza ku ssente z’afuna mu kuyimba engeri okuyimba gye kwadobonkana kwe baagatta n’okubasiba mu biseera bya Covid 19.

(Ebifaananyi bya ssimu)