Waliwo omu ku Bamusigansimbi okuva mu ggwanga lya China eyalabiddwaako ku luguudo lw’e Gayaza ng'asotta akagaali akakazibwako erya ‘‘mmaanyi ga kifuba’’ akakadde wakati mu pereketya w'omusana nga n’akatuuyo kamuyitamu.
Omukulu ono n’engeri gye yabadde atunulamu ng’asotta akagaali ng’alaga nti kamukooyezza nnyo. N’amapeesa g’essaati agamu yabadde agasummuludde.
Abantu abaamulabye obwedda basigala beewuunaganya nti omuggalo we gunyigidde Musigansimbi abasuubirwa okuba n’akasente akawera olwo bbo.
Baagambye nti abantu nga bano babasuubira okuba n’emmotoka wamu n’ebiwandiiko ebibatambuza oba okuvuga akagaali akatamenya nnyo nga buno obukyusa ggiya bw’aba asazeewo okuvuga eggaali.
Kasala Chinese6
Kasala Chines4
Kasala Chinese1
Kasala Chines0