Njagala kuganza Spice Diana, ansula ku mwoyo - Chris Evans

Omuyimbi Chris Evans ategeezezza mu lwatu nti yeegwanyiza muyimbi munne Spice Diana. 

Njagala kuganza Spice Diana, ansula ku mwoyo - Chris Evans
By Frank Lukwago
Journalists @New Vision
#Chris Evans #Spice Diana

Omuyimbi Chris Evans ategeezezza mu lwatu nti yeegwanyiza muyimbi munne Spice Diana. 

Mu mboozi ey’akafubo n'omukutu gwa ttivvi emu, Evans, mu kiseera kino atali mufumbo, yalaze nti essira kati alitadde ku kuwangula mutima gwa Spice Diana.

Evans yakkirizza nti eky'amazima Spice Diana amulidde obwongo n'ebirowoozo, Evans n'agamba nti bwe yakolagana ne Spice mu by'okuyimba ekigendererwa kye kyali kyakumuwangula mutima.

"Njagala kuganza Spice Diana. Ye muntu gwendowoozaako ne sifuna tulo. Y'ensonga lwaki twatuuka n'okukola oluyimba ffenna, naye sinnafuna kifo ku mutima gwe," Evans bwe yayatudde ekimuli ku mutima.