Kasalabecca

Mpologoma alaalidde e Bungereza

BAGAMBA nti ‘awalungi tewaba wannyo’ naye omuyimbi Betty Mpologoma yandiba nga luno olugero taluwulirangako, bw’alaalidde e Bungereza.

Mpologoma alaalidde e Bungereza
By: Musasi Bukedde, Journalists @New Vision

BAGAMBA nti ‘awalungi tewaba wannyo’ naye omuyimbi Betty Mpologoma yandiba nga luno olugero taluwulirangako, bw’alaalidde e Bungereza.

 

Yagenda kuyimba ku kivvulu kya UG Festival ekyali ku Royal Regency ekyaliko ne Bobi Wine nga September 6 ne 7.

Mpologoma Bw'afaanana

Mpologoma Bw'afaanana

Wadde banne abasinga baakomawo dda, Betty Mpologoma akyali mu matwale ga Kabaka Charles era abamubuuza lw’anadda, abawoleza kimu nti akyawummuddemu.

 

Si ye yekka wabula n’aba Solid Band ekulemberwa Kabanda kigambibwa mbu nabo tebannadda ku butaka.

 

Era balekedde abantu ebibuuzo nga beewuunaganya nti nabo tebaba nga baagenze kuyiiyiza eyo.

Tags:
Mpologoma
Bungereza
kulaalira