Abadigize babinuse nga Radio West eweza emyaka 26!

KWABADDE kubinuka masajjere ku wiikendi nga Radio West ejaguza okuweza emyaka 26 ng’eweereza abantu. 

Abadigize babinuse nga Radio West eweza emyaka 26!
By Fatumah Nagudi
Journalists @New Vision
#Kasalabecca #Kinihiro #Mboozi #Kusanyuka

KWABADDE kubinuka masajjere ku wiikendi nga Radio West ejaguza okuweza emyaka 26 ng’eweereza abantu. 

Abakozi Ba Vision Group Nga Basala Kkeeki Okujaguza Emyaka 26 Egya Radio West Mu Buweereza. Ku Ddyo Ye Ndyanabo.

Abakozi Ba Vision Group Nga Basala Kkeeki Okujaguza Emyaka 26 Egya Radio West Mu Buweereza. Ku Ddyo Ye Ndyanabo.

Radio West, eri wansi wa Vision Group, efulumya ne Bukedde era ekivvulu kyategekeddwa mu kisaawe e Kakyeka mu Mbarara. Kyatuumiddwa Ekinihiiro kya Radio West @26 era abantu beeyiyeeyo bajagulize wamu n’abakozi baayo.

Abakozi ba Vision Group, baakulembeddwa amyuka agikulira, Gervase Ndyanabo, maneja wa Radio West, Dickson Nandinda, mmeeya wa Mbarara City, Robert Kakyebezi (yaliko omukozi wa Radio west), omubaka wa Palamenti Francis Mwijukye, abawagizi baayo n’abawuliriza ne babinuka n’okusala kkeeki. 

Abamu Ku Baweereza Ba Radio West.

Abamu Ku Baweereza Ba Radio West.

Ndyanabo yasiimye abawuliriza okubafuula nnamba emu mu by’obuweereza nga bawuliriza emikutu kya Vision Group gyonna.

Abayimbi bangi baacamudde abantu okwabadde; David Lutalo, T Paul, Sister Charity, Betty Mpologoma, Kazibwe Kapo, Swahabah Kasumba, Allien Skin n’abalala. 

Kyawagiddwa aba Nyakayojjo SACCO Ltd, MTN, Pepsi, Hays Recruitment, Solar Today, Golden Choice n’abalala.