Bya Musasi waffe
Omuyimbi Rabadaba ( Faisal Sseguya),olumaze okukwata vidiyo y’oluyimba lweyatuumye ffe banene n'awaga nti Kati ayingidde mu ttuluba ly'abanene munsi yonna .
Gye buvuddeko Rabadaba yagenda e Bulaaya gyali Kati ne mukyala we Nalongo era nga eby’okuyimba abikwasiza maanyi nnyo nga kuno kwe yatadde n’okukola vidiyo eyakabi gyeyayise eyekyasa olwe birungo bye yataddemu.
Rabadaba
“Nze Kati sikyasabirwa nga abayimbi abalala era Kati ndi munene nga oluyimba bw’oluwulira nga njagala lubeere oluyimba olusinga mu afrika olwa vidiyo eyakwatidwa bannakinku wano e Bulaaya abayitibwa 20 Dawg”. Rabadaba bweyategeezezza.
Yayongedeko nti”vidiyo yamumazeeko paundi nyingi kubanga ebintu ebya kozeseddwa nga bakola vidiyo byabade bya buwanana okuli emmotoka esinga ebbeeyi Bentley, n’abakugu mu kukwata vidiyo wamu ne firimu e Bulaaya”Rabadaba.
Rabadaba ng'akwata Video
Ebimu ku bigambo ebiri mu luyimba luno bigenda bwe biti:
“They think they dancehall but they nat, man like RABADABA cream of the crop, no matter wether dancehall or hip hop man never Pon di bottom we stay up
Nze mpologoma mwana tebansembelela nze mbalaba Bulabi eyo gyebannengelela,
Rabadaba ng'akola Video
Rabadaba yakayimba ennyimba okuli Tonta,Omwana W'omwaami,Ffe Banene,Wanchekecha,Body,Byange,Nzuno,Come over ,love portion,mwami sentema wamu ne nddala nyingi