Mikey atabuse ne Sefuko ne babiyingizaamu 'Bash'

MICKEY Seems 2 funny ne munne Sefuko bafunye obutakkaanya ekitabude abawagizi baabwe ab’oku Tik Tok.

Mikey atabuse ne Sefuko ne babiyingizaamu 'Bash'
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Tik Tok #Mickey Seems 2 funny #Sefuko

MICKEY Seems 2 funny ne munne Sefuko bafunye obutakkaanya ekitabude abawagizi baabwe ab’oku Tik Tok.

Bano ababiri batuuse n’okwasa ebyama omuli eby’abakyala kwosa n’emirimu gye batambuliza ku yintanenti.

Entabwe kigambibwa nti eviira ddala emabega nga bano bombi nga bakatandika okubeera n’ettutumu ku Tik Tok.

Sefuko agamba bukyanga Mickey akola ekivvulu ne kibooga ku Theater Labonita yakyuka era takyagambwako.

Mickey ye agamba Sefuko okugenda ng'ayogera ku mukyala we Bash y'ensonga lwaki akyamwambalira okutuusa nga yeetonze