CB Talker ng’amannya ge amatuufu ye Joshua Onjeyo, eyeegulidde erinnya mu kusanyusa abantu ng’ayita ku mukutu guno ogwa Tik-Tok era kino akiwanguddemu ne awaadi za mirundi esatu.
Awaadi zino baazifunidde Dubai nga zaatuumiddwa Ug Tik Tok Talent Awards.
Omulala eyawangudde ye Taata Kimbowa ng’ono ali mu kibiina kye kimu ne CB Talker ekya Tuli Bulala.