ENNAKU zino batabani b’omuyimbi Mesach Semakula be baliko ku mitimbagano gya yintanenti era abawala babatunuulidde n’amaaso amoogi nga kwe kwavudde n’eng'ombo y’ekigambo ‘Stock Empya’.
Ndowooza Mesach Semakula alabye guli gutyo, kwe kwatulira batabani be nga bwe batalina kye bamubanja kuba abasomesezza ne bamalako nga balina okwetakulira nga tebatunuulidde bya bugagga bye.
Mesach yabadde ku mukolo ogumu kwe baamuwadde akazindaalo n’ayogera era abamu ne beewuuganya nti omukulu ekiraamo kye akikoledde mu lujjudde.
“Abaana bange tebammanja era teboogera ku byobugaga byange kuba byange na mukyala wange. Ssente zange nagulamu ettaka era buli lwe njagala mmotoka empya nga ntundako.” Mesach bwe yagambye.