AMALUSU katta gatuge abantu abaagenze mu kivvulu kya ba Madrat ne Chiko ekyabadde ku Sheraton olw'enseko enyingi ze baasese.
Ekivvulu kino kye baatuumye Nseko Buseko baakikoze nga bajaguza emyaka 10 nga bali mu nsiike ya kkomedi.

Madrat Ne Chiko Nga Basanyusa Abantu Mu Kivvulu.
Kyajjumbiddwa abantu era buli muntu eyagenzeeyo yafunidde ddala ekyo kye yabadde asuubira.
Madrat ne Chiko olwalinnye siteegi zaabadde nseko zokka nga n'abantu abamu baalabidwako nga baggyeeyo obutambaala okusiimuula amaziga agaabadde gabava mu maaso olw'enseko.

Maama Wa Madrat Ng'afa Enseko Bwe Yabadde Mu Kivvulu Kya Mutabani We.
Bano obwedda beenyumyako emboozi mu ngeri esesa okugeza nga bwe baali bagenda mu Amerika ne bagenda okusaba Visa mbu eyali azigaba n’atunuulira Madrat n’alowooza nti mwana muto awerekedeko taata we Chiko.

Tayebwa Ne Nyamutooro Ng'enseko Zibula Okubatta.
Bano tebatya bakulu! Baatandise n'okukuba amyuka sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa olwali olwalese abantu nga baseka. Ababiri bano nabo Eddy Kenzo tebaamuviiriddeko awo kasita baategedde nti mukyala we, minisita Nyamutooro naye yabaddewo mu balabi.
Tayebwa yaleeseewo akabugumu mu kivvulu bwe yawadde maama wa Madrat ssente ‘enzungu’ olwo nno Madrat mu ngeri y'olusaagirizi n’ayagala okuzimuggyako mbu amulekere eza wano kubanga ziri tazimanyi kyokka nnyina n’akamutema nti azimanyi nnyo.
Baawerekeddwako bannaabwe mu kuzannya kkomedi omwabadde Tumbetu, Talkers n'abalala. Abayimbi okwabadde Mesach Ssemakula, Lydia Jazmine, Grenade nabo baabaddeyo nga basanyusa abantu.