Moureen Nantume ayogedde ensonga ezaamuwalirizza okulokoka

Maureen Nantume, omuyimbi wa bbandi, okufaananako bayimbi banne Desire Luzinda, Grace Nakimera ne Zanie Brown annyonnyodde ekyamulokosezza.

Moureen Nantume ayogedde ensonga ezaamuwalirizza okulokoka
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Maureen Nantume

Maureen Nantume, omuyimbi wa bbandi, okufaananako bayimbi banne Desire Luzinda, Nina Roz, Grace Nakimera ne Zanie Brown annyonnyodde ekyamulokosezza.

Nantume agamba nti okusalawo okusenza Yesu kyaddiridde ebbanga ly'amaze nga yeewadeyo eri Katonda.

Ng'ayogerera ku ttivvi emu, Nantume yalambuludde ku nkolagana ye empya gy'alina ne Katonda n'agamba nti Nantume yalambuludde ku nkolagana empya gye yafuna ne Yesu n'engeri gye yeewaddeyo okwongera okuzimba enkolagana ye ne Katonda etabadde ya bulijjo.

"Waaliwo ekiseera we nnali nneetaaga okuwaayo omutima gwange eri Yesu Kristo. Bwe nakikola omwoyo gwange gwawummula mw'eno enzikiriza empya. Eno nkyukakyuka ya muggundu mu mutima gwange era ekyusizza engeri gye mbadde ntegeeramu Yesu Kristo," Moureen bwe yategeezezza.