Desire Luzinda ayingiddewo mu ggwanga okwetegekera emikolo egiriyo wiiki ejja.
Ono atuuse ku ssaawa 8:30 ez’emisana ku kisaawe Entebbe okuva mu America era ng’ayanirizibwa muninkini we Levixone kw’ossa mikwano gye.
Luzinda ne Levixone emikolo gyabwe gigenda kutandika n’okwanjula ku Lwokubiri lwa wiiki ejja olwo embaga egoberere.
Levixone ng'ayaniriza Desire ku kisaawe.
Okusinziira ku nsonda Bukedde z’esobodde okwogerako nazo, tutegeezeddwa nti embaga ya bano egenda kubeera mu ggwanga lya Rwanda.
Bw’abadde yakatuuka ku kisaawe agambye nti musanyufu nti emikolo gigenda kubawo kubanga omuntu we amwagala nnyo.
Agambye nti yeesunze okumugatako erinnya ly’omwami we era nti yasazeewo okugattibwa naye kubanga yakiraba nga Katonda yakikola nga baakubeera bombi.
Luzinda agambye ebigambo by’abantu tebimuyigula ttama kubanga abadde mu butaala okumala ebbanga era n’ayogerwako.