Kasalabecca

Kkooti ewadde Zari obuyinza ku byobugagga bya bba

ZARI Hassan mukyala w’omugenzi Ivan Ssemwanga alinnye ennyonyi okuva e South Africa n'agasimbagana n'aba ffamire ya bba ku by'emmaali y’omugenzi gy'agamba nti baali baagyezza

Zari ne batabani be mu kkooti e Wandegeya eggulo.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

ZARI Hassan mukyala w’omugenzi Ivan Ssemwanga alinnye ennyonyi okuva e South Africa n'agasimbagana n'aba ffamire ya bba ku by'emmaali y’omugenzi gy'agamba nti baali baagyezza.
Zari yalinnye ne batabani be babiri ne bagenda ku kkooti y'ensonga z’amaka e Wandegeya ng'ayagala kkooti eragire aba ffamire bakyuse emmaali bagizze mu mannya g'abaana be kuba bakuze.

Baabadde mu maaso g’omulamuzi Alice Komuhangi ku Lwokubiri eyabalagidde basooke bateese era oluvannyuma lw'eddaakika nga 30 baavuddeyo nga bonna baliko akamwenyumwenyu mu ngeri eraga nti kye bakkaanyizzaako bonna kibawadde essanyu awatali kunyigiriza ludda lwonna.
Kyategeerekese nti abooluganda bakkirizza okukyusa emmaali bagiteeke mu mannya g'abaana ba Ssemwanga. Ssemwanga ne Zari baazaala abaana basatu abalenzi. Emmaali kuliko ebizimbe e Makerere, poloti ez'enjawulo n'ebintu ebirala mu bitundu eby'enjawulo.
ZARI AYOGEDDE KU NDABIKA YE EMPYA
Zari mu kkooti yazze na ndabika mpya era bakira abamutunuulira beewuunya bw'akyuse amangu nga si y'oli gwe babadde bamanyi! Bwe yabuuziddwa ku ndabika eno, yagambye nti eyitibwa “Temporary lift” n'awakanya ekya 'facelift' abantu kye babadde bagamba nti kye yakoze. Enkola eno ekyusa mu ndabika y'omuntu kungulu mu ffeesi naddala ku bisige ng'ekolebwa okunyweza ffeesi n'erema okuyiikayiika

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags: