ELIJAH Kitaka teyeemotyamotya kwogera muwendo gw’abaana b’alina.
Wadde mu Buganda bagamba nti omusajja tabalirwa nzaalwo, ye yavuddeyo mu lwatu n’ategeeza nga bw’alina abaana basatu mu bakazi 2.
Agamba nti yatandika okuzaala ku myaka 20. Wano abawala abaabadde bamwetega n’okumwegwanyiza we baamenyekedde emitima ne bamusuubiza obutamusonyiwa.
Kitaka ate yeekubye endobo, bwe yategeezezza nga kitaawe bw’ali Omusumba era yamukuliza mu mbeera ey’okutya Katonda.